TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Akalulu k'Obwapulezidenti e Zimbabwe katadde bannansi ku bunkenke

Akalulu k'Obwapulezidenti e Zimbabwe katadde bannansi ku bunkenke

By Musasi wa Bukedde

Added 1st August 2018

BANNANSI ba Zimbabwe bali ku bunkenke obutagambika oluvannyuma lwa Pulezidenti Emerson Mnangagwa ne Munnabyabufuzi ow’oludda oluvuganya Nelson Chamisa, buli omu okwerangirira nti ye yawangudde akalulu ak’ebyafaayo akaakubiddwa ku Mmande ng’alinda kulayira.

Zimbabweelectionsrobertmugabe719519 703x422

BANNANSI ba Zimbabwe bali ku bunkenke obutagambika oluvannyuma lwa Pulezidenti Emerson Mnangagwa ne Munnabyabufuzi ow’oludda oluvuganya Nelson Chamisa, buli omu okwerangirira nti ye yawangudde akalulu ak’ebyafaayo akaakubiddwa ku Mmande ng’alinda kulayira.

Chamisa 40 ow’ekibiina ekisinga obunene ku ludda oluvuganya ekya Movement for Democratic Change (MDC) nga munnamateeka era Paasita ye yasoose okulangirira nti ebikung'aanyiziddwa enkambi ye mu byavudde mu kulonda mu bifo 10,000 kw’ebyo 10,985 ebirondebwamu biraga nti aleebeza waggulu nnyo Mnangagwa.

Yategeezezza nti akakiiko k’ebyokulonda aka Zimbabwe Electoral Commission (ZEC) ke kasigadde okumulangirira ku buwanguzi akole gavumenti era awadde Mnangagwa amagezi okukkiriza nti awanguddwa.

Kyokka amangu ddala nga Chamisa yaakamala okwewaana nti awangudde akalulu, Pulezidenti Mnangagwa owa ZANUPF yafulumizzaawo ekiwandiiko eri abawagizi ng’agamba nti enkambi ye bye yaakakung'aanyawo biraga nti agenda kuwangulira waggulu nnyo.

Yasabye abawagizi ba ZANU-PF obutabuzaabuzibwa byafulumiziddwa abooludda oluvuganya kubanga bulimba bwereere obugendereddwaamu okuleetawo obujagalalo.

Akalulu kaakubiddwa ku Mmande omulundi ogusookedde ddala nga Robert Mugabe 94 teyeesimbyewo okuva mu 1980 Zimbabwe yeefuga. Abantu abasoba mu bukadde butaano be basuubirwa nti baalonze.

Mu kalulu k'ababaka ba Palamenti ku bifo 210 eby'ababaka, ZANU PF eya Mnangagwa zaakawangulako ebifo 109 ate MDC eya Nelson Chamisa baakawangulako ebifo 41. Ebifo 58 tebinnalangirirwa.

Kyokka akakiiko k'ebyokulonda kakyagaanyi okulangirira ebyavudde mu kalulu k'obwapulezidenti era kalubudde enkambi zombi okukomya okwelangirira ku buwanguzi oba si ekyo bajja kukolebwako omukono gw'amateeka.

Wadde guli gutyo, ebivaayo biraga Mnangagwa eyasinze okulondebwa abantu b'omu byalo akyaleebya Chamisa alina obuwagizi mu bibuga. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi