TOP

Kadaga awadde gav't ebiragiro ku bubenje.

By Muwanga Kakooza

Added 1st August 2018

Kadaga awadde gav't ebiragiro ku bubenje.

Kip2 703x422

Kadaga ng'ayogera

SIPIIKA Rebecca Kadaga alagidde minisita w’eby'enguudo Monica Azuba Ntege  okwanguya okuleeta amabago ku mateeka agatali gamu agakwata ku butebenkevu bw’oku nguudo kyongere okuyambako okukendeeza obubenje.

Mu ngeri y’emu omubaka w’ekibuga,  Lugazi, Isac Mulindwa Ssozi asabye poliisi okussaawo ebikwekweeto by’ebidduka ebyamaanyi ku luguudo lw’e Jinja wakati w’e Kitega ne Mabira kikendeeze obubenje obuyitiridde okugwa mu kitundu kino.

Bino byabadde mu palamenti ,sipiika Rebecca Kadaga bwe yalagidde gavumenti okuleeta mangu amabago g’amateeka g’oku nguudo okuli eryokulongoosa mu tteeka ly’ebidduka erya ‘transport and road safety act’,eryenguudo (roads bill) ne lipooti ekwata ku bubenje.

Minisita Ntege Azuba yagambye nti amabago gagenda kuletebwa mu lukiiko lwa baminisita n’oluvannyuma gayanjulwe mu palamenti. Yategeezezza nti badduleeva b’ebimmottoka ebinene  bagenda kuddamu okugezesebwa n’okwekenyezebwa ku likodi zaabwe ku nguudo abaanayita bawebwe pamiti empya.

Era n’agamba nti obufo omutera okugwa obubenje ekitongole ky’enguudo ekya UNRA kibwetegereza kisobole okubusalira amagezi okulaba nga bulongoosebwa kimalewo obubenje.

Ye omubaka Mulindwa Ssozi yagambye nti ekiwendo kya ‘Operation Fika Salama’ bwe kyassibwa ku luguudo lw’e Masaka waaliwo okukendeera kw’obubenje. N’asaba kissibwe ne ku lw’e Jinja. Ababaka beemulugunyizza ku nguudo enfunda ze bagamba nti ze zivuddeko obubenje.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...