TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • E Zimbabwe amagye gakubye amasasi mu bawagizi ba Chamisa: 3 bafu!

E Zimbabwe amagye gakubye amasasi mu bawagizi ba Chamisa: 3 bafu!

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd August 2018

AMAGYE ne poliisi e Zimbabwe bikubye amasasi ne ttiyaggaasi mu bawagizi b’oludda oluvuganya abaalumbye ekitebe ky’ebyokulonda nga baagala akakiiko kalangirire ebyavudde mu kalulu ke bagamba nti baakawangulidde waggulu.

Xqb6s0i8edyrkd5b61dfbb254dc 703x422

Abantu basatu be battiddwa abalala 12 ne batuusibwako ebisago eby’amaanyi.

Abawagizi ba Nelson Chamisa 40 , ow’ekibiina ekisinga obunene ku ludda oluvuganya ekya Movement for Democratic Change (MDC) baabadde baagala akakiiko aka Zimbabwe Electoral Commission (ZEC) okulangirira omuntu waabwe ku buwanguzi nga balumiriza nti ye yawangudde era alinda kulayira.

Bino byaddiridde Chamisa okulangirira ku Lwokubiri nti ye yawangudde akalulu ak’ebyafaayo akaakubiddwa ku Mmande kyokka ne Pulezidenti Emerson Mnanangwa ow’ekibiina kya ZANU- PF ekiri mu buyinza naye yeewaanye nti ye yawangudde akalulu alinda kakiiko aka ZEC okumulangirira.

Waabaddewo akajagalalo ku kitebe ky’Ebyokulonda ekisangibwa mu kibuga Harare nga poliisi egumbulula abawagizi ba Chamisa, abamu abaabadde bakutte emiggo n’amayinja era baakubiddwaamu amasasi, ttiyaggaasi ne babuna emiwabo okukkakkana ng’omuntu omu attiddwa.

Pulezidenti Mnangagwa yalabudde okuggalira ab’oludda oluvuganya ssinga beerangirira kubanga ogwo mulimu gw’akakiiko ak’Ebyokulonda.

Akalulu kaakubiddwa ku Mmande omulundi ogusookedde ddala nga Robert Mugabe 94, teyeesimbyewo okuva mu 1980 Zimbabwe lwe yafuna obwetwaze.

alt=''

Akulira akakiiko k’Ebyokulonda aka ZEC, Omulamuzi Priscilla Chigumba yategeezezza nti akalulu kaakubiddwa mu mirembe n’asuubiza nti leero ku Lwokuna ku ssaawa 6:30 ez’omu ttuntu bagenda kutandika okufulumya ebyavudde mu kalulu k’obwapulezidenti. Yafulumizza eby’ababaka ba palementi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda