TOP
  • Home
  • Agawano
  • Omusuubuzi w'amatooke asaasaaebicupuli bamukutte

Omusuubuzi w'amatooke asaasaaebicupuli bamukutte

By Moses Lemisa

Added 2nd August 2018

OMUSUUBUZI w’amatooke agambibwa okuba ng’aludde ng’asaasaanya ssente ez’ebicupuli, poliisi emukutte.

Goat 703x422

Zziwa (ku kkono) nga bamutwala ku poliisi.

Frank Zziwa 30, ow’omu Ssebina Zooni e Kawempe atunda matooke mu katale ka Freedom.

Yakwatiddwa poliisi y’oku Kaleerwe nga kigambibwa nti ssente zino ez’ekicupuli asinga kuziwa bakasitoma abamugulako amatooke ng’abaddiza bbaalansi saako n’okubitwala ku maduuka mu budde obw’ekiro.

Zziwa yasangiddwa n’ebicupuli bya 40,000/-, kaadi ekozesebwa okunywerako amafuta ku masundiro nga teri mu mannya ge gye yagambye yalonda nnonde ne layini z’essimu eziwerako.

Bwe yakwatiddwa teyeegaanye kusangibwa na bicupuli wabula yagambye nti waliwo omusajja gw’abigulako ng’ono ye Yasin Ndobeso.

Yagambye nti ebicupuli abisuubula busuubuzi. Bw’awaayo 5,000/- entuufu, nga bamuwa ebicupuli bya 20,000/-.

Zziwa yalumirizza ne basuubuzi banne nti balina ebicupuli bino kuba nabo babisuubula. “Mukwate ne Yasin abinsuubuza ate nga n’abalala babisuubula ne babiwaanyisa ne ssente za bakasitoma entuufu,” Zziwa bwe yagambye.

Ku kya layini z’essimu ze baamusanze nazo yagambye nti yadde bazisanze mu waleti ye, naye tamanyi nnannyini zo.

Nuliat Namugga omu ku basuubuzi yategeezezza nti waliwo ekibinja ky’abasuubuzi b’omu butale bw’oku Kaleerwe abatambuza ebicupuli. Omusango gwa Zziwa guli ku SD10/21/07/2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....

Lop2 220x290

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu...

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu