TOP
  • Home
  • Agawano
  • Ekikomera kya nneyiba kigwiridde ennyumba ne kitta Ssemaka n'abaana 2

Ekikomera kya nneyiba kigwiridde ennyumba ne kitta Ssemaka n'abaana 2

By SHAMIM NABUNNYA

Added 2nd August 2018

LYDIA Namuleme 28, ali mu maziga oluvannyuma lw’ekikomera kya muliraanwa okugwira ennyumba gy’apangisa ne kitta bba n’abaana babiri.

Kome1 703x422

Ennyumba eyagudde Mugambi (mu katono) n'afiiramu

Ekikomera kigambibwa nti, kya mutabani wa Sarah Nkonge, Hamfred Nkonge kye kyagudde mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu ku ssaawa 10:00 nga bukya.

Ekikomera kyabadde kyazimbibwa okwetooloola ekifo ekiwummulirwamu.

Entiisa yabuutikidde abantu b’e Lusaka mu munisipaali y’e Makindye abaabadde balwana okutaasa batuuze bannaabwe ekikomera be kyabuutikidde bwe baasanze Bosco Mugabi n’abaana be babiri.

Hamfred Nkonge, ekikomera abadde yakizimba kumpi n’ennyumba z’abapangisa ba Nnaalongo Rose.

Namuleme yategeezezza nti, yabadde yeebase mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu ne yeekanga ekisenge ky’ennyumba nga kibaggwako.

Mu kiseera ekyo enkuba yabadde etonnya nga teyasoose kumanya nti ekikomera kikubye ennyumba yaabwe.

Yagenze okwetegereza nga mukoka ayingira mu nnyumba. “Nayise omwami wange Bosco Mugabi eyabadde yeebase azuukuke, kyokka nga tanziramu.

Nagenze okwetegereza ng’ekitanda kyamenyese, ng’omutwe gwonna gubetentese era ng’omusaayi gumuvaamu mungi.

Nakubye omulanga ogwamaanyi abantu ne banguwa okujja okuntaasa, kyokka baagenze okwetegereza nga baze yafudde dda n’abaana bange ababiri.

Simanyi waakutandikira kubanga famire yange yonna eweddewo” Namuleme obwedda bw’alaajana ng’amaziga gamuyitamu.

 baana unior gobya ne abakesera abaafiiridde mu nnyumba Abaana; Junior Ngobya ne Nabakesera abaafiiridde mu nnyumba

Abaana abaafudde ye, Junior Bosco Ngobya 5, abadde asomera ku Mother Care Kindergarden mu Top Class ne Chloe Nabasekera ow’emyaka ebiri.

Abaana abaafudde bombi baabadde basuze ne kitaabwe ku kitanda era ekisenge kyabakubye emitwe ne gibebentuka.

Ekyawonyezza Namuleme yabadde yeebase mirannamiro awataagudde kisenge.

Mugabi abadde avuga mmotoka ya Kasiringi mu Ndeeba. Ssaalongo Herbert Nsubuga, ssentebe w’ekyalo yategeezezza nti baamukubidde essimu ku ssaawa 10:20 ng’obudde bukya ne bamutegeeza nti ekisenge kikubye abantu basatu.

Yagambye nti ekikomera ekyasse abantu akimanyi bulungi nti kya Hamfrey Muwonge, mutabani w’omugagga Sarah Nkonge.

Kyokka Sarah Nkonge agamba nti ebikomera byawukana nga ekyagudde kya muliraanwa we mukyala Nabanjala.

N’agamba nti weyatuukidde ng’emiranga n’ebiwoobe bisaanikidde ekifo kyonna.

Entiisa yabadde yamaanyi kubanga ekisenge kyabakubye emitwe gnga sikyangu kubategeera.

Nsubuga yategeezezza nti ekikomera bwe kyali kizimbibwa tebaalekawo muwaatwa wayita mazzi, era okugwa kyatendewaliddwa olw’amazzi amangi agabadde gakisindika ne kituuka n’okunafuwa.

Fred Eriku, akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Katwe yagambye nti, bagenda kunoonya nnannyini kikomera abannyonnyole engeri gye kyazimbibwaamu bwe wanaabawo ekikyamu bamuvunaane.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta