TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abantu 30,000 abeesenza mu lutobazi e Kyetinda bakaaba twawa!

Abantu 30,000 abeesenza mu lutobazi e Kyetinda bakaaba twawa!

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd August 2018

ABATUUZE abasoba mu 30,000 okuva ku byalo okuli; Katoogo, Kiruddu ne Lower Mawanga, mu munisipaali y’e Makindye basuliridde okusengulwa ku ttaka oluvannyuma lw’ekitongole kya NEMA okukizuula nti beesenza mu lutobazzi lwa Kyetinda.

Abakulembeezemumunisipaaliyemakindyengaboogerakulwabantu 703x422

Abakulembeze mu Munisipaali y'e Makindye nga boogera kulw'abatuuze. EBIFAANANYI BYA PROSSY NABABINGE

PROSSY NABABINGE

ABATUUZE abasoba mu 30,000 okuva ku byalo okuli; Katoogo, Kiruddu ne Lower Mawanga, mu munisipaali y’e Makindye basuliridde okusengulwa ku ttaka oluvannyuma lw’ekitongole kya NEMA okukizuula nti beesenza mu lutobazzi lwa Kyetinda. 

Bino bizze oluvannyuma lw’ekitongole kya NEMA okubawa ebbaluwa gyebuvuddeko ebasaba okwamuka ekifo kino mu nnaku 21, wabula nabo nga bayita mu looya waabwe Ladislas Rwakafuzi owa Rwakafuzi and Co. Advocates, bawaayo okusaba nga baagala okuteeseganya ne NEMA nti kubanga waaliwo abamazeewo ebbanga erisukka mu myaka 32 nga balinako n’ebyapa. 

 unnamateeka wakafuzi Munnamateeka Lwakafuzi

Ku lw’okubiri NEMA yeesitudde n’egenda okwogeraganya n’abatuuze bano, era munnamateeka wa NEMA Sarah Naigaga nabasomera amateeka agalambika obuvunaanyizibwa bw’abatuuze mu kukuuma entobazzi omuli; obutazeesenzaamu, okulimamu okuzimbamu oba okuyiwamu ebintu byonna ebizonoona. 

Wano omugagga Robert Ssemogerere, nanyini kifo ekisanyukirwamu ekya; Auto Spa e Munyonyo nakyo kiri mu lutobazzi luno, alajaanidde aba NEMA obutabasenda era naabasaba okubongera obudde waakiri emyaka  etaano, kisobozese abatuuze okufuna ebifo ebirala gye balaga kubanga balinako ebintu  eby’obuwangaazi okuli; amayumba, amasomero ne bizinensi endala ebitasobola kusengulwa mu kabanga akatono, ate nga bangi ssente bazeewola mu zi bbanka ezikyababanja. 

Dr. Daniel Babikwa, akiikiridde akulira ekitongole kya NEMA ategeezezza ng’olukungaana luno bwelubadde lugendereddwaamu okutema empenda ezinasobozesa omulimu gwabwe ogw’okukuuma obutonde bw’ensi okugenda mu maaso. 

 obert semwogerere owa uto pare ngannyonnyola Robert Ssemwogerere owa Auto Spare ng'annyonnyola

Agambye  nti, singa abatuuze bano banaaleeta  ebiwandiiko byonna ebiraga obwananyini ku ttaka lino,  bajja kutuula ng’ekitongole okusalawo ku kiki ekiddako eri abatuuze ate n’okulaba nti olutobazzi lwa Kyetinda lukuumibwa.   

Bbo abatuuze ababadde bakiikiriddwa abakulembeeze b’ebitundu byabwe ebyenjawulo, bawadde ensonga zabwe lwaki NEMA erina okukwataganira awamu nabo mukukuuma olutobazi okusinga okubasenza akati ate nga tebalina wakudda. 

Bano bawadde NEMA amagezi okuddamu okuzuula awaatekebwa ensalo salo ezasooka ezateekebwawo Hon. Miria Mutagamba mu kiseera weyabeerera kubukulembeze olwo bbo bateekewo sengenge ng’engeri y’okukakasa nti tewali asalimbira mu lutobazi olusigaddewo.

 r aniel abikwa ngannyonnyola abatuuze Dr. Daniel Babikwa ng'annyonnyola abatuuze

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.