TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Ababbira mu takisi empya ttuku Poliisi ebayodde ne boogera ebyama n'ani abatuma

Ababbira mu takisi empya ttuku Poliisi ebayodde ne boogera ebyama n'ani abatuma

By Eria Luyimbazi

Added 3rd August 2018

POLIISI ng’eyita mu kitongole kyayo ekirwanyisa abazigu ekya Flying Squad, ekutte abavubuka abali mu kibinja ekibbira mu takisi ne boogera abakulira n’engeri gye bapanga misoni zaabwe.

Kuba 703x422

Grace Ssebulime ne James Agaba (ku ddyo) abaakwatiddwa ku by’okubbira mu takisi.

Abaakwatiddwa kuliko; Grace Ssebulime ne James Agaba era okubakwata kyaddiridde abaserikale ba Flying Squad okulondoola takisi nnamba UBC 761A mwe baabadde batambulira ne bagikwatira e Nabweru – Katooke ku Lwokubiri.

Oluvannyuma lw’okukwatibwa Ssebulime abeera e Wamala yabuulidde poliisi nti, waliwo munnaabwe abakulira gw’amanyiiko erya Sanoni ng’ono y’aleeta takisi gye bagenda okukozesa mu bubbi era nga be babba babasanga ku nguudo ez’enjawulo.

Yagambye nti mu takisi babeeraamu abantu nga munaana ne beegabanya ebifo nga ye omulimu gwe kuketta mmotoka eziyinza okuba nga zibalondoola .

Yategeezezza nti, omusaabaze gwe banabba bamutuuza mu maaso era olukwe lw’okumubba lubeeramu ddereeva, kondakita n’omulala atuula mu maaso era Sanoni y’atera okubeera mu maaso.

Yagambye nti bwe baba bagenda okubba, Sanoni abakubira essimu ne basisinkana olwo ne bagenda ku nguudo ez’enjawulo okuli Jinja Road, Hoima Road, Ntebe Road ne ku luguudo lwa Northern Bypass. Sanoni abakulira abeera Nansana ku Masitoowa, Big Meat ye ddereeva ne Musa.

 akisi ekozesebwa ababbi Takisi ekozesebwa ababbi.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti, okukwata takisi eno kyaddiridde okugifunako amawulire nti ekozesebwa ababbi okunyaga abasaabaze.

Yagambye nti okunoonyereza poliisi kw’ekoze yakizudde nti ebibinja by’ababbi abanyaga abasaabaze mu takisi bisinga kuva Nansana kubanga buli abakwatibwa bategeeza nti, gye bakuhhaanira.

Yategeezezza nti oluusi abantu be babba tebatera kutegeera nti, babbiddwa ate abalala bababba ku kifuba era agezaako okulwana bamusindika n’agwa ebweru ne beeyongerayo.

Yayongeddeko nti, mu kiseera kino poliisi enoonya nnannyini takisi annyonnyole engeri mmotoka ye gye yatuuse okukozesebwa mu bubbi. Abeenyigira mu bubbi buno bali mu bibinja bangi.

EBIRALA....

Omukazi akubye enduulu Poliisi n'ebataasa ku takisi y'ababbi ku Kaleerwe

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’