TOP

Buganda y'esinza abaana ababungeetera ku nguudo

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd August 2018

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi agambye nti ekitundu kya Buganda kye kikyasinze okuvaamu abaana abataayaayiza ku nguudo n’abava e Karamoja.

Save 703x422

Bp. Kaggwa, Ba minisita Dr. Muyingo ne Nakiwala Kiyingi mu kutongoza omusomo

Yagambye nti kyennyamiza nti Buganda eyali ensibuko y’obugunjufu mu Uganda, okunoonyereza okusembyewo, abaana ba Buganda abali ku nguudo basukka mu bitundu 63 ku buli 100.

Wabula yaweze nti amaanyi g’ataddemu abaana tebagenda kuddamu kulabwako ku nguudo.

Yanenyezza abawala abaganza abasajja nga tebannatuuka nga beekwasa obwavu n’agamba nti ebyo butaliimu kuba nabo baasobola okusoma ne bamalako mu mbeera y’obwavu.

Bino yabyogeredde mu kuggulawo olukuhhaana olw’ennaku essatu oluyitibwa “Annual Conference on Child Behavioral Health in Sub Saharan Africa,” ku Hotel Brovad e Masaka okuteesa ku mbeera n’enneeyisa y’abaana abawaganyala n’okwenyigira mu mize, olwategekeddwa Polof. Fred Ssewamala asomesa mu Yunivasite y’e Washington mu Amerika.

Lwetabiddwaamu bakakensa mu by’okunoonyereza okuva mu mawanga ag’enjawulo, abakulu b’amasomero n’abasomesa, Omusumba w’e Masaka, John Baptist Kaggwa, Minisita avunaanyizibwa ku matendekero aga waggulu, Dr. JC Muyingo n’abalala.

Mu kusooka, omumyuka wa kaminsona atwala amasomero g’obwannannyini, George Mutekanga yatongozza omukolo gw’abayizi 700 abaayambiddwaako Polof. Ssewamala okuggulawo akawunta mu bbanka ya Centenary ne Stanbic nga baterekako buli mwezi naye n’abongerezaako.

Baabadde ku kigo kya Kimaanya mu Masaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera