TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni bamuwadde engule y'okulwanirira emirembe mu buvanjuba bwa Afrika

Museveni bamuwadde engule y'okulwanirira emirembe mu buvanjuba bwa Afrika

By Hussein Bukenya

Added 3rd August 2018

EKIBIINA ky’obwannakyewa ekirwanirira emirembe mu nsi ekya Global Peace Foundation kiwadde Pulezidenti Museveni ekirabo ky’omuntu asinze okutakabanira emirembe mu buvanjuba bwa Afrika.

United 703x422

Museveni ng’awanise ekikopo kye baamuwadde olw’okulwanirira emirembe mu buvanjuba bwa Afrika. Emabega we (ku kkono) ye Amani Abeid Karume eyali pulezidenti wa Zanzibar. Ku ddyo ye Dr. Robert A. Schuller owa Global Peace Foundation Council.

Museveni yasiimiddwa olw’okufaayo okutuuzanga abakulembeze abasoowaganye n’okuweereza amagye mu mawanga amalala okukuuma emirembe.

Kino azze akikola mu mawanga nga Burundi, Rwanda, Kenya, South Sudan ne Somalia. Uganda era y’ensi esinga okubeeramu abanoonyi b’obubudamu mu Afrika. Basukka akakadde.

Okusiima Museveni, baabadde mu lukuhhaana olwa ‘6th Global Peace Leadership Conference’ olw’ensi yonna olwatudde ku Speke Resort e Munyonyo. Lwetabyemu abakulembeze abasob mu 1,000. Olukuhhaana luno olwakomekkerezeddwa ku Lwokuna, lwamaze ennaku bbiri.

Lubeerayo omulundi gumu mu mwaka. Olunaddako lwakubeera mu South Korea mu 2019.

Museveni mu kwogera kwe yasanyuse olw’okumusiima kyokka n’ategeeza nti Abafirika bwe baba baagala okutebenkeza ensi zaabwe balina okwewala okubeera abaluvu.

Obuluvu yalaze nti buvuddeko obutabanguko kuba abantu tebalina bugumiikiriza eri bannaabwe era beewale n’okulowooza nti buli kizibu okukimalawo balina kusooka kufuna buyambi okuva mu mawanga g’ebweru.

“Okuva mu 1960, Congo teddangamu kufuna mirembe okuva Patrick Lumumba lwe yatemulwa, wadde ng’ekibiina ky’amawanga amagatte weekiri.

Abatta Lumumba be baavaako obuzibu era beemanyi,” Museveni bwe yagambye.

Pulezidenti yasabye ensi yonna okuwagira okwegatta kwa North Korea ne South Korea, ensi ebbiri ezimaze emyaka kumpi 50 nga zisojjagana.

Yagambye nti okwegatta kw’ensi nga Girimaani ne Vietnam byaziyamba okukula mu byenfuna.

Dr. Hyun Jin Preston Moon, omutandisi era ssentebe wa Global Peace Foundation yagambye nti alina ekirooto ky’okulaba nga Abakorea beegatta ne beekolera ku bizibu byabwe nga bali bumu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye