TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ba mbega bazudde omuyambi wa Kayihura Baroza gye yaddukira

Ba mbega bazudde omuyambi wa Kayihura Baroza gye yaddukira

By Musasi wa Bukedde

Added 4th August 2018

Ba mbega bazudde omuyambi wa Kayihura Baroza gye yaddukira

Kab1 703x422

Baroza

EYALI omuyambi wa Gen. Kayihura, anoonyezebwa ku by’okutemula Felix Kaweesi bazudde gy’ali. ACP Jonathan Baroza yadduka okuva ku mirimu gye yali atumiddwa mu Algeria mu June 2018, era okuva olwo abadde anoonyezebwa. Poliisi ya wano yabadde emaze okusaba poliisi y’ensi yonna okuyambako mu kunoonya Baroza. 

Ono y’omu ku bagambibwa okwenyigira mu kutemula Kaweesi. Kaweesi yattibwa March 17, 2017 e Kulambiro. Yatemulwa ne ddereeva we Godfrey Mambewa n’omukuumi we Kenneth Erau.

Omwogezi wa poliisi y’Ensi Yonna mu Uganda, SP Vicent Ssekate yategeezezza Bukedde ku Lwokuna nti nga bakolaganira wamu ne poliisi mu Algeria baakizudde nti yadduka. Kigambibwa nti okudduka yamala kumanya ku nteekateeka z’okumukomyawo mu Uganda abeeko by’annyonnyola ku kutemula Kaweesi.

Abajulizi ab’enjawulo bakissa ku Baroza ng’omu ku baali wakati mu by’okutta Kaweesi. Era oluvannyuma waliwo abasajja babiri abaakwatibwa nga bayoola omusaayi mu kifo we battira Kaweesi ne balumiriza Baroza nti ye yali agubatumye.

Kigambibwa nti omusaayi gwali gugenda kutwalibwa mu basamize e Masaka okusiba omusango.

ENGERI BAROZA GYE YADDUKA Baroza yasindikibwa Kayihura mu Algeria akolagane ne poliisi yaayo mu nteekateeka z’okugula n’okuleeta wano kkamera eziketta abamenyi b’amateeka ezigenda okussibwa ku nguudo mu bibuga mu kaweefube w’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.

Algeria lye limu ku mawanga agakyasinze okulwanyisa obutujju n’obumenyi bw’amateeka nga gakozesa kkamera. Kyokka engeri Baroza gye yatwalibwayo eriko akabuuza kubanga omulimu ogwamuweebwa gukolebwa bakugu mu kulwanyisa obutujju kyokka nga ye talina bukugu bwonna.

Abadde akola mu poliisi eya bulijjo mwe yava okufuuka omuyambi wa Kayihura. Wabula ebbaluwa eyawandiikibwa Kayihura ng’amusemba okuweebwa omulimu ogwo yamwogerako ng’omukugu mu byokulwanyisa obutujju.

Ebbaluwa yasindikibwa ku kitebe kya poliisi ya Afrika mu Addis Ababa ekya Ethiopia. Okukola emirimu gya poliisi mu Afrika obeera wansi wa poliisi ya Afrika (AFRIPOL). Noolwekyo Baroza abadde akolera wansi wa AFRIPOL. Ekirala ekyewuunyisa yagenda mu Algeria mu April 2017,kyokka ebbaluwa emusemba okufuna omulimu yawandiikibwa August 7, 2017.

Okubula, poliisi ya Afrika yali emulonze okwetaba mu musomo gw’abakungu ba poliisi okuva mu mawanga g’obuvanjuba, amasekkati n’obukiikaddyo bwa Afrika ogwali mu Congo Brazzaville nga June 13 ne 14.

Abaserikale b’amadaala aga waggulu mu poliisi eyo bakozesa paasipooti z’ebyokwerinda ezibanguyiza okutuuka buli wantu. Baroza bwe yatuuka e Congo, yakozesa amaanyi ga paasipooti ye n’akwata ennyonyi endala egambibwa okumutwala e Turkey.

Kigambibwa nti eno gye yava ne yeeyongerayo e Canada. Kyategeezeddwa nti yatandikiddewo okukola ku mpapula z’abanoonyi b’obubudamu, kyokka tekinnamanyika oba we bamuzuulidde ng’amalirizza okukola ku mpapula.

BAAMULABYE BATYA? BAMBEGA abali ku muyiggo gwa Baroza baabadde bamaze okusuula enkessi mu mawanga Baroza gy’asuubirwa okwekweka. Kyategeezeddwa nti baalondodde entambula ze okuva mu Algeria, Congo ne Turkey. Era baasoose kulowooza nti ali mu Turkey kubanga baasobodde okuzuula obujulizi obulaga nga yayingira mu ggwanga eryo kyokka nga tewali kiraga nti yavaayo.

Oluvannyuma baakizudde nga mu Turkey yamalamu akaseera kyokka oluvannyuma n’afuluma eggwanga. Kyategeezeddwa nti waliwo olukuhhaana lwa Bannayuganda abava e Kigezi abeegattira mu kibiina kya International Community of Banyakigezi (ICOB) olwatudde mu kibuga Toronto ekya Canada. Kigambibwa nti Baroza bwe yategedde ku lukuhhaana n’agenda okunyumyako ne Bannayuganda banne, wadde nga ye tasibuka Kigezi. Eno bambega gye baamulabidde.

Kyokka bambega baategeezezza Bukedde nti tebaasobodde kukwata Baroza wadde nga kati bamanyi waali. Poliisi y’Ensi Yonna ebadde etwala Baroza ng’eyabuze, kyokka tennawa kiragiro kimukwata. Ekirala, waliwo amateeka agalina okusooka okugobererwa okukwata omuntu ali mu nsi endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...