TOP

Engeri gy’ozimba ennyumba empya nga tomenye nkadde

By Musasi wa Bukedde

Added 4th August 2018

Engeri gy’ozimba ennyumba empya nga tomenye nkadde

Kib1 703x422

Deogratious Nsubuga ng’alaga ennyumba ye gy’azimba nga bw’agisulamu.

ABANTU abalina ennyumba enkadde ne bafuna ekirowoozo ekizimba empya batera okusanga obuzibu okusalawo oba basooke kumenyawo nkadde oba bazimbiremu empya nga bwe bakyasula mu nkadde.

Bw’osigalamu osobola okulondoola entambula y’omulimu kyokka olina okugumira ebizibu ng’enfuufu, okutaataaganyizibwa abazimbi, okusengukasenguka n’oluusi okufuna obubenje. Kyokka bw’osalawo okuvaawo n’opangisa, obeera ogenda kusaasaanya ssente z’obupangisa, obukuumi bwa sayiti n’oluusi okuteekamu ssente z’entambula.

Kyokka bw’oba osigaddewo olina okwetegeka obulungi n’omanya ebbanga w’onoogimalira, okukuuma obulungi abantu bo obutafuna bisago.

EBIRUNGI BY’OKUSOOKA OKUVA MU NNYUMBA

Owona okutawaanyizibwa enfuufu eva ku nnyumba gye bakoonakoona n’amaloboozi g’abazimbi. lObeera tokyalina byama. Abazimbi buli kye balaba awaka kyangu okukiraalaasa ku kyalo ekiyinza okukuleetera ebizibu n’ababbi.

Okusigala ku sayiti kiyinza okuwanvuya ebbanga omulimu gw’okuzimba we gwandiggweredde kubanga buli kiseera mulina okukyusa ebintu oba okulinda sayidi emu okusooka okukala.

Abazimbi bajja kukusaba ssente nnyingi bw’ogeraageranya ku nnyumba gye basitudde omulundi ogumu. Kino kibatwalira obudde bungi nga balinda mukyuse ebintu n’ebitundu ebimu okukala.

Ebisenge by’ennyumba enkadde biyinza okugwa ne bikuba abantu engeri gye babikoonakoona ne bijjamu enjatika.

Enzimba eyekikka kino ya bulabe nyo eri abasulamu naddala abaana olwe mpeewo eyingira nga eyita mu bituli ebyalekebwa mu bisenge.

EBIRUNGI BY’OKUSIGALA MU NNYUMBA

Ssente ze wandibadde osaasaanya ku nnyumba gy’opangisa ziyinza okukola kinene ku nnyumba.

Kikwanguyira okulondoola omulimu n’okulemesa abazimbi okubba ebikozesebwa. Obeera olina obudde obwogeraganya ne yinginiya ku nnyumba eno ne musalawo mangu ekyokukola.

EBITUNDU EBIKWETAAGISA OKUVA MU NJU

Bwe baba bakuba siriingi, okukuba pulasita n’okukomerera wandibadde ofuluma ennyumba okwewala obubenje, pulasita yeetaaga obudde okukala ate n’omusenyu oguyiikayiika gucafuwaza ennyumba yonna.

Bw’oba osiba tayiro abazimbi wandibadde obawa obudde bw’oba oyagala omulimu gunyume n’okuguma. Kino bw’otakikola ojja kwesanga nga tolina ky’okekkerezza. By’olina okutunuulira

Tuula n’omuzimbi omanye obudde bw’agenda okuzimbira ennyumba, weetegekere abantu bano abapya n’okumanya obudde bw’ogenda okumala nga tolina mirembe. Ennyumba gisalemu ebitundu. Manya ebitundu bye bagenda okukolako na ddi kubanga ennyumba yonna egenda kujjula enfuufu n’okucankalana. lFuna ekisenge w’okung’anyizza ebintu byo obibikkeko obutajjula nfuufu n’okwonooneka oba okubbibwa.

Abaana n’ebisolo byo nga kapa n’embwa olina okubikuuma obulungi obutafuna buzibu nga bazimba.

lGgwe n’ab’omu maka go mulina okwambala engatto oba ssapatu okwewala ebintu nga emisumaali, amabaati n’ebirala okubasala.

OMUSUUBUZI AYOGEDDE Omusuubuzi w’e Kisoga mu Mukono akulaze engeri gye yazimbamu ennyumba ye ng’akyasula mu nkadde. Agamba nti yasooka n’afuna yinginiya n’omuzimbi ne beetegereza omulimu ne bakuba pulaani engeri gye bagenda okugukolamu.

Baasima omusingi gwa ffuuti mukaaga ogwasimibwa wabweru w’ennyumba. Baasimba empagi ezimanyiddwa nga “column” eziyimirirako ennyumba. Twazzaako okusiba enkokoto n’amayinja n’okugatta empagi zino.

Twagiwa akabanga ka mwezi mulamba okukakasiza ddala nti enkokoto ekaze n’egumira ddala. Bino olwaggwa ne ntandika okumenya ennyumba enkadde kyokka nga ntandikira mabega. Oluvannyuma twazimba omusingi mu ngeri emanyiddwa nga “Ground beam” okukuuma empagi zino okubeera mu kifo kimu.

Twatandika okuzimba kyokka kino nakikola mu bitundutundu olw’enfuna yange. Kyokka omulimu okutambula obulungi olina okuba ng’ebintu ebisinga nga bbulooka, omusenyu,Ying. Elijiah Bbuule akulaze engeri gy’olina okuzimbamu ennyumba nga tosenguse mu nkadde newankubadde agamba nti mu nkola entuufu tokkikirizibwa kuzimba nnyumba mpya mu nkadde naddala ng’abantu bakyasulamu.

Agamba nti kyangu abantu okufuna obubenje nga bbulooka zibakuba, okulinnya ku misumaali n’okubulwa emirembe nga osenguka okuva mu kisenge ekimu okudda mu kirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pop1 220x290

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa...

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa okutta Kirumira bateereddwa

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza