TOP
  • Home
  • Amawulire
  • By’olina okwegendereza ng’ogula ebizimbisibwa nga tonnatuusa kuzimba

By’olina okwegendereza ng’ogula ebizimbisibwa nga tonnatuusa kuzimba

By Musasi wa Bukedde

Added 4th August 2018

By’olina okwegendereza ng’ogula ebizimbisibwa nga tonnatuusa kuzimba

Lop2 703x422

Kikyamu okuyiwa omusenyu okumpi n’ettaka eriyinza okuguyingiramu.

OKUGULA ebizimbisibwa omuntu ne bw’aba tannatuusa kuzimba efuuse nkola mu bantu. Abamu bakifunyeemu ate abalala basigadde beevuma eyabawa amagezi gano. Olw’okuba okuzimba kwongera kuba kwa buseere buli olukya abantu batono abasobola okugula ebizimbisibwa omulundi gumu mu kiseera ky’okuzimba bwe batyo ne babigula mpolampola. Ebizimbisibwa ebisinga okuterekebwa mulimu: amayinja, omusenyu, bbulooka, seminti, emitayimbwa, amabaati n’ebirala.

Ying. James Katabalwa owa Kebro Construction Company agamba nti okugula ebizimbisibwa ng’omusenyu ne bbulooka ke kamu ku bukodyo obuyambako okukuuma poloti nga tonnatuusa kuzimbamu.

Era enkola eno tekwetaagisa kukwata ssente z’okuzimba mulundi gumu. Ogula ebintu ebiwera nga tebikunyize nnyo era kikuwa n’amaanyi aganoonya endala.

WANDIBADDE OSOOKERA KU KI OKUGULA? Ying. Fred Jjuuko Wavamunno owa Jjuuko Construction Uganda Ltd agamba nti kirungi okusookera ku kugula amayinja kuba tegayonooneka ne bwe gamala ekiseera ekiwanvu mu kifo. Kirungi okuzzaako bbulooka kyokka olina kugula ziyidde zokka ezitakosebwa nkuba.

Kyandibadde kirungi n’ogapanga bulungi ne bagabikkako ekiveera oba essubi oba okugazimbira akayumba n’oteekako amabaati. Omusenyu bw’oba oguyiye olina okugutangira okukulukuta ng’oteekayo ebiguzizika. Ekifo kyandibadde si kya kaserengeto era n’okakasa nti tegwetabikamu ttaka n’abaana okuguzannyiramu. Omusenyu bwe gugendamu ettaka tegukwata era akamu ku bubonero kwolabira omusenyu ogulimu ettaka gumeramu omuddo.

EBYOKWERINDA Olw’okuba ebintu bino obeera obikuumira wabweru ng’ate oluusi tewabeera muntu, kyangu okubbibwa abantu. Bayinza okubibba mpolampola oba oluusi okuleeta mmotoka ne babitikkako nga tomanyi. N’olwekyo kikwetaagisa okufuna omukuumi oba okutegeeza ku banneyiba.

Bwe kituuka mu sizoni y’enkuba olina okwewala ennyo ebintu byo okufa n’okukuluggusibwa amazzi. Mukoka y’omu ku munyazi gw’olina okwegendereza kuba atwala ebintu. Kakasa nti amazzi tegabiyitamu butereevu. Omusenyu gwe wandibadde osembayo okugula nga tonnaba kuzimba kuba gulina bingi ebiguyigganya era tegwandisusse myezi esatu. SEMINTI BWAYINGIRAMU AMAZZI YEEKWATA Ying. Ronald Nsubuga Balimwezo yategeezezza nti seminti alina okuterekebwa mu kifo w’atafunira bunnyogovu.

Asobola okusika amazzi ne yeekwata n’abeera nga takyalimu nkwaso. Seminti bw’amala okwekwata ebitole ne bw’omukuba n’abetenteka taddamu kunywera bw’omuzimbisa. Balimwezo yalabudde abantu okwegendereza seminti gwe batundira mu kkiro kubanga omu amala kwonooneka ne balyoka bamutunda. Omusenyu ogwonoonese bw’oguzimbisa gulabika. Bw’ebeera enkokoto tekala wadde pulasita tanywera ng’omusenyu guyiikayiika.

BBULOOKA ZIGULE KU MUNTU OMU Katabalwa agamba nti bw’ogula ebintu ku muntu omu, atuuka ekiseera n’abeera nga takyasobola kukuguza bintu bitawera oba ebitali ku mutindo kuba abeera atya okukufiirwa. Ekintu ekimu ne bw’oba okisanzeemu obuzibu osobola bulungi okukizzaayo. Okugeza bbulooka nga zino bw’oba wazigula ku bantu ba njawulo kizibu okumanya eyakuwadde embi. Ate abalala kyangu okukuwa bbulooka ezitawera nga mu kifo kya 10,000 akuwa 8,000.

FFAAYO KU MUTINDO GW’EBINTU Olw’okuba ebintu by’ogula biba bigenda kulwawo nga tonnaba kubikozesa, wandibadde ofaayo okugula ebintu ebiri ku mutindo. Buli kintu olina okusooka okukyekenneenya ennyo kuba ne bwe gubeera musenyu bwe gutaba muyonjo bulungi gusobola okwonooneka n’okukuttira ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup