TOP

Kazibwe Bashir owa Bukedde ayagala kya UJA

By peter ssaava

Added 5th August 2018

Kazibwe Bashir owa Bukedde ayagala kya UJA

Mba1 703x422

Kazibwe Bashir Mbaziira ayagala ekifo kya UJA

Munnamawulire Bashir Kazibwe Mbaziira aweereza pulogulaamu ya ‘Ekiry’atabaala’ ebeerawo okuva ku ssaawa 9:00 ez’akawungeezi okuva mu Mmande okutuuka ku Lwokutaano ku Bukedde Fa Ma Embuutikizi avuddeyo okuvuganya ku kifo kya pulezidenti w’ekibiina ekigatta bannamawulire ekya Uganda Journalists Association (UJA). Ekibiina kino kigatta bannamawulire bonna mu Uganda era kyatandikibwawo munnamawulire Kintu Musoke mu 1963.

Okuva mu 1963, ekibiina kibadde kironda abakulembeze oluvannyuma lw’emyaka ebiri, egy’ekisanja nga bwe kyalambikibwa mu ssemateeka afuga ekibiina kino. Ku Lwokutaano, Kazibwe yasoose kukima mpapula ezimusobozesa okwesimbawo okuva ku ofiisi z’ekibiina kino ku kizimbe kya Lion Shopping Arcade ku Namirembe Road mu Kampala, oluvannyuma n’ayita olukuh− haana lwa bannamawulire mwe yabategeerezza by’agenda okutandikirako.

Yategeezezza nti bannamawulire babadde bafuna ebizibu omuli okukubwa nga bakola emirimu gyabwe, okunyoomebwa n’abamu okusasulwa obubi n’ategeeza nti bino bye bimu ku by’agenda okutandikirako. “hhenda kuteekawo akakiiko mu kibiina kino akagenda okulondoola bannamawulire abafuna ebizibu eby’enjawulo omuli n’okukubwa tulabe nga n’abo ababatuusaako obulabe bakangavvulwa nabo basobole okufuna obwenkanya.” Kazibwe bwe yategeezezza.

Yayongedde n’ategeeza nga bw’agenda okuteekawo ekibiina ky’obwegassi buli munnamawu-lire atereke ate oyo aba ayagala okwewola yeewole nabo basobole okwongera ku nkulaakulana yaabwe. Okulonda kuno kugenda kubaawo nga August 10 omwaka guno ku Tick Hotel e Kawempe. Munnamawulire Robert Kagolo okuva ku UBC ye yalondebwa mu kifo yya pulezidenti w’ekibiina mu 2016 era ng’ono ekisanja kye kigggwaako mwaka guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basawowebuse 220x290

Abasawo bawakanya ekya gavumenti...

Abeekibiina ky'abasawo bawakanyizza ekya Gavumenti okuwola musigansimbi ssente.

Laba 220x290

Muggya wange yanjokya amata n’adduka...

NNEEVUMA ekyantwala mu bufumbo nga nkyali muto kuba ssinga si mukisa gwa Katonda, nandibadde mufu kati. Nze Asiya...

Ssenga1 220x290

Omukyala yagaana okunjoleza

MUKYALA wange buli kintu awaka akikola ng’omukyala ddala naye yagaana okwoza engoye zange era tagolola. Nafuna...

Lamba 220x290

Enkuba be yayonoonedde ebyabwe...

EKIBIINA ky’obwannakyewa kidduukiridde abatuuze b’e Muduuma abaakoseddwa enkuba omwabadde kibuyaga eyasudde amayumba...

Bajaasoomukoabanjaebintuekifsaulwokulira 220x290

Abanja bakoddomi be omutwalo

Omusajja asabye bakoddomi be omutwalo gwe yabawa ng'awasa mukyala we