TOP

Ssentebe wa NRM e lwengo atabukidde aba NEMA

By Musasi wa Bukedde

Added 6th August 2018

Ssentebe wa NRM e lwengo atabukidde aba NEMA

Lwe1 703x422

Abatuuze nga beemuluguny olwa NEMA okubanyera ebintu byabwe

Bya Florence Tumupende

SSENTEBE wa NRM mu disitulikiti y'e Lwengo Capt.Mulindwa Birimaaso ayimirizza mbagirawo ekitongole kya NEMA ekivunanyizibwa okulabirira n'okukuuma obutonde bw'ensi mu ggwanga ekibadde kinyiikidde okusanyawo ebibira by'akalitunsi n'ebirime ebyasimbibwa mu ntobazi n'alagira abakulu bano basooke bawe abatuuze obudde obumala baggyemu ebintu byabwe.

 

Kino kidiridde abatuuze mu maggombolola abiri okuli Kyazanga T/c ne Kyazanga Rurol okwekubira omulanga eri omukulu ono nga bwe boolekedde okuzindibwa obwavu n'okuggya abaana baabwe mu masomero olw'ekitongole kino okukozesa omukono ogw'ekyuma nga tebasoose ku basomesa n'okubawa obudde obumala okukungula ebirime byabwe mu bifo by'entobazi ekitongole kino bye kikayanira.


Capt Birimaaso bino olumugudde mu matu akubidewo essimu omw.Godfry Mutemba atwala eby'obutonde bw'ensi mu Lwengo amubuulire gyeyaggye obuyinza bw'okusengula abatuuze ku ttaka ly'entobazi eritali lya Gavumenti ne batuuka n'okutwala abatuuze mu kkooti ekintu ekimenya amateeka n'amulagira okuyimiriza omulimu guno singa baagala okusigala mu Lwengo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja