TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde yefuula omusawo n'abba abantu poliisi emukutte e Kayunga

Abadde yefuula omusawo n'abba abantu poliisi emukutte e Kayunga

By Saul Wokulira

Added 6th August 2018

Abadde yefuula omusawo n'abba abantu poliisi emukutte e Kayunga

Ka1 703x422

omufere nga poliisi emukutte

OMUFERE aludde nga yeyita dokita n'aggya ku bantu ssente ab'obuyinza e Kayunga bamugombyemu obwala.Ono ensonyi bakira zimutta ne yekwata mu maaso era bamubuuzizza ebikwata ku busawo nga amatama ntengo.

Akwatiddwa ye Stephen Magezi Kawuki bamukwatidde Busaana nga yapangisiza akasenge ku loogi emu mw'abadde aferera abantu nga yefuula abajjanjaba olwo n'abalyako ssente.

Yafuna foomu z'amalwaliro okuli Suubi ne Busaana parents clinic zino z'akozesa okuwandiikira abalwadde ebivudde mu kubakebera wabula nga nabyo abiwandiika mu luzungu olumenyefumenyefu.

Waliwo abantu abaatemezzaako ofiisi ya RDC e Kayunga era nayo n'esikika Bambega ne banyweza omusajja ono. Abadde ne ppamba n'ebyuma ebirala by'akozesa okufera nga bicaafu nnyo era nga tekikkirizika nti bisobola okukola ku bulamu bw'abantu.

Bayise akulira ebyobulamu e Kayunga Dr. Ahmed Matovu n'asoya omufere ebibuuzo by'asawo nga tewali n'ekimu ky'amanyi.

RDC wa Kayunga Rose Birungi n'omumyuka we Were Yahaya balabudde abo bonna abafere abeerimbika mu busawo nti buli gwebakwata kanaamujjutuka.


  Magezi bamukwasizza poliisi e Kayunga n'emutwala aggulweko emisango egy'okufuna ssente mu lukujjukujju n'okweyita ky'atali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...