TOP

Abooluganda batabuse e Kayunga lwa kibanja

By Saul Wokulira

Added 6th August 2018

Abooluganda batabuse e Kayunga lwa kibanja

Kib1 703x422

Abatuuze nga bali mu lukiiko

AVUNANYIZIBWA ku kukuuma n'okutumbula eddembe ly'obuntu e Kayunga Collins Kafeero akuutidde abantu okufaayo okufuna ebiwandiiko ku bintu ebikalu bye bafunye n'okusinga ebibanja n'ettaka kibawonye okukumpanyizibwa. Kafeero yagambye nti abantu befuula ne batwala ebintu bya bannabwe naddala bwe balaba nga bannanyinibyo tebalina biwandiiko bibyogerako.

Kafeero bino yabyogeredde ku kyalo Kkungu gyeyagenze okutaasa ab'oluganda abagwang'ana mu malaka olw'ekibanja.

Nandegye Kenneth yaloopye mukulu we Godfrey Wanzira okukumpanya ekibanja kye era nga amusindiikiriza akiveemu ne famile ye ate nga tebalina wakulaga.

Nandegye yawa mukulu we Wanzira ssente akakadde kamu amugulire ekibanja kyokka Wanzira endagaano n'agikola mu mannya ge era wano wasinziira okugoba mutoowe.

Kafeero oluvanyuma lw'okufuna obujulizi okuva mu ba famile n'abataka yalagidde nti Nandegye asigale mu kibanja era n'alabula Wanzira okukomya okutulugunya mugandawe.

Abatuuze baacomedde Wanzira ne bamulangira obukumpanya obumutuusizza okwagala okunyaga mutoowe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...