TOP

KCCA efunye kkampuni ezinaddaabiriza amataawo mu Kampala

By Hannington Nkalubo

Added 6th August 2018

DAYIREKITA wa Kampala, Jennifer Musisi akakasizza ng’amataawo erya Katimba n’eddene erigatta ku katale k’e Katwe bwe gagenda okukolebwa oluvannyuma lw’okufuna kkampuni ezigenda okugakolako kyokka n’ateeka obukwakkulizo ku bagenda okugakozesa.

United1 703x422

Agambye nti, amataawo gano tegagenda kukkirizibwamu pikipiki wadde eggaali era tebagenda kukola lya mmotoka nga bwe kyasooka okutegeezebwa.

Yategeezezza nti, bagenda kugaddaabiriza basseemu amataala n’okugayooyoota munda n’ebweru nga tewali mazzi galegamamu wadde enzikiza okukwatamu.

Ate erya Katimba afunye kkampuni egenda okuliyooyoota abalina ebyamaguzi balirangireko.

Musisi yalambudde amataawo gano wiiki ewedde ng’ali ne Meeya wa Makindye Munisipaali, Ali Kasirye Nganda Mulyannyama, yinginiya Andrew Kitaka n’abamu ku bayinginiya mu KCCA.

Meeya Mulyannyama yamulaze obulabe obubaddewo ng’amataawo tegakola n’amusaba abayambe ku nsonga eno.

Dayirekita Musisi yalambudde n’enguudo ezikoleddwa kkampuni ya Abubaker Technical Services Ltd eziwedde n’ezikyakolebwa n’agisiima okukola ku mutindo.

Alambudde oluguudo okuli olwa Nsambya – Katwe, Jjuuko, Kevina, Appas, Kalungu, Nantongo.

Ezimu ziwedde ate endala zikyakolebwa nga n’endala okuli olwa Kawuku ne Lukuli zigenda kutandikibwako.

Yategeezezza nti, waliwo ebitundu omulimu we gubakaluubiridde ng’ekizibu kivudde ku bannannyini ttaka abataagala kukolagana bulungi ne KCCA n’asaba abantu naddala abalina ebikomera ku kkubo bakkirize baweeyo ku ttaka lyabwe enguudo zikolebwe.

N’alabula abayiwa kasasiro mu myala n’abakozesa enguudo obubi nti amateeka gagenda kubakwata era n’asaba abatuuze bakuume bulungi enguudo ezikoleddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.