TOP

Ebizibiti ku gwa Ssebuufu okutta Katusabe bikyabuze

By Musasi wa Bukedde

Added 7th August 2018

Ebizibiti by’amasimu agagambibwa nti Ssebuufu ne banne ge baakozesa okwogeraganya ku lunaku omugenzi Donah Katusabe lwe yattibwa bikyabuze.

Ssebuufu 703x422

Bya ALICE NAMUTEBI

Ebizibiti by’amasimu agagambibwa nti Ssebuufu ne banne ge baakozesa okwogeraganya ku lunaku omugenzi Donah Katusabe lwe yattibwa bikyabuze.

Guno mulundi gwa kubiri nga oludda oluwaabi lelemererwa okuleeta amassimu okugangula eri omulamuzi Anglin Ssenoga ali mu musango gw’okutta Katusabe.

Omwezi oguwedde looya wa gavumenti, Micheal Ojok yategeeza kkooti nti amasimu g'abo gaggalirwa mu ofiisi ya Richard Ndaboine akulira emisango gya yintanenti “cyber-crime” eyakwatibwa aba CMI ne ISO wamu ne Kale Kayihura nga kati tebalina ngeri yaakubiggyayo okuggyako ng'aba  CMI bakkirizza. 

Ojok eggulo yazzeemu okutegeeza omulamuzi Anglin Ssenoga nti n’okutuusa kati tebannafuna bizibiti bino kuva mu ba ISO.

Amassimu gano makulu nnyo mu musango guno kubanga kigambibwa nti gagibwe kubamu kubavunaanibwa nga ku lunnaku Katusabe lwattibwa gebakozesanga okwogeraganya.

Ate eyakulira okunoonyereza ku musango guno Detective AIP Henry Peter Warya yawadde obujulizi nagamba nti yeyakulemberamu ekibinja ky’abapoliisi bonna abaakola ku musango nga yabawa n’ebiragiro

Yagambye nti “abakwatibwa ku kutta Katusabe nalina okubagyako ebinkumu, bakubibwe ebifaananyi saako okubagyako omusaayi gugerageranyizibwe n’ogwo ogwali gusangidddwa mu kifo omugenzi weyattibwa.

Olwobunene bwa fayiro bampa ekibinja kyabambega banyambeko. Abamu baava ku poliisi e Katwe,  Kireka, Kibuli, CPS n'aba Flying Squad.

Ye Muhammad Ssebuufu, Godfrey Kayizi, Philip Mirambe ne Steven Lwanga baali bakwatiddwa dda nga bamazze n’okukola sitetimenti era omusawo eyabakebera yakakasa nti tebalina kikyamu kyonna ku mutwe.

Warya yawadde kkooti lipooti kwebasabira abalabalatole ya gavumenti e Wandegya okukebera omusaayi gwabavunaanibwa n’ogwo ogwasangibwa mu mmotoka eyatambuza Katusabe saako ogwasangibwa mu kifo weyattibwa naye looya wa Ssebuufu, Evans Ochengie.

Ochengie yagambye omulamuzi nti lipooti eno yandiba nga ngigirire kubanga baleese ngyokeseemu ate nga bwino eyakozesebwa mu kuwandiika ku lupapula wa mirundi ebiri. Yasabye omulamuzi lipooti eno agigaane ereme kukozesebwa ng’obujulizi omulamuzi omusango kwekugwongezaayo okutuusa nga August 9, 2018 lwanawa ensala ye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img0317webuse 220x290

Obuwempe bw’oku mmeeza mwe nzudde...

Okuluka obuwempe bw'oku mmeeza mwe nazuula omukisa gw'okukola ssente

Aktalewebuse 220x290

Ab'e Kamuli bakaaba lwa mbeera...

Embeera y'akatale ne ppaaka y'e Kamuli bitulemesezza okukola ssente

Isaakwebuse333 220x290

Ensonga lwaki tolina kufumbira...

Ekivaako abantu okufiira mu nnyumba mwe bafumbira

Aging1 220x290

Ebyange ne Grace Khan bya ddala...

ABABADDE balowooza nti Kojja Kitonsa n’omuyimbi Grace Khan bali ku bubadi muwulire bino.

Anyagatangadaabirizaemupikizabakasitomabewebuse 220x290

Okukanika kumponyezza okukemebwa...

Okukola obwamakanika kinnyambye okwebeezaawo n'okuwona okukemebwa abasajja olwa ssente