TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatemu bawambwe omukazi e Mpigi ne basaba obukadde 4

Abatemu bawambwe omukazi e Mpigi ne basaba obukadde 4

By Paddy Bukenya

Added 8th August 2018

Abatemu bawambwe omukazi e Mpigi ne basaba obukadde 4

Lip1 703x422

Arinitwe eyabuziddwaawo

ABAZIGU bawambye omusawo we Mpigi ng'agenda Kampala n'abasaba abenganda obukadde buna, nti singa zibalema omulambo bagunone mu Lwera.

Jane Arinitwe 35 omusawo wakalwaliro ka St Cleo’s Drug shop e Kayabwe mu gombolola ye Nkozi mu Mpigi yeyawambiddwa ku Sande akawungeezi nga agenda e Kampala okusisinkana bagandabe bagende ku mikolo mu kyalo eMasindi.

Arinitwe yasemba okulabibwako ng'alinya bodaboda eyamutwala ku stage ya Taxi mu kafene e Kayabwe kyokka ekyaddiridde bebatemu okukubira beyalese ewaka nti baweereze mangu ssente obukadde buna (4,000,000/-) bwe balemererwa banone omulambo gwabwe mu Lwera ku lwe Masaka.

Simu eno basooka kugifuna ku ssaawa nya ezekiro era ku makaya (ku Mande) bakedde kunoonya ssente mu boluganda ne baweereza abatemu obukadde bubiri (2,000,000/) kyokka ne babawa nsalesale wa lwakutaano lwa wiiki eno singa balemererwa okuweza obukadde obuna banone omulambo gwa munnaabwe mu Lwera ekintu ekibatadde mu kutya okw'amaanyi.

Bano nga bakulembeddwamu Juliet Businge baddukidde ku poliisi ye Kayabwe ensangi ne bazibakwasa era mu kiseera kino poliisi eri mu kuyigga batemu bano.

Ab'enganda za Arinitwe abasangiddwa mu maziga bategeezeza nti ssente ezibulayo zikyababuze kyokka nga abatemu ababakubira ssimu bamalirivu nyo okutta Arinitwe kubanga tebaagala nakuteesa era bwogezaako okwogera nabo ebigambi ebingiko nga simu bagigyako.

Omwogezi wa poliisi mu Katonga Joseph Musana ategeezezza nti batandise okulinya abatemu bano akagere era ssaawa yonna bakukwatibwa kyokka n'alabula abantu okuyamba ku poliisi singa baba bafunye amawulire agakwata ku bazigu bano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basawowebuse 220x290

Abasawo bawakanya ekya gavumenti...

Abeekibiina ky'abasawo bawakanyizza ekya Gavumenti okuwola musigansimbi ssente.

Laba 220x290

Muggya wange yanjokya amata n’adduka...

NNEEVUMA ekyantwala mu bufumbo nga nkyali muto kuba ssinga si mukisa gwa Katonda, nandibadde mufu kati. Nze Asiya...

Ssenga1 220x290

Omukyala yagaana okunjoleza

MUKYALA wange buli kintu awaka akikola ng’omukyala ddala naye yagaana okwoza engoye zange era tagolola. Nafuna...

Lamba 220x290

Enkuba be yayonoonedde ebyabwe...

EKIBIINA ky’obwannakyewa kidduukiridde abatuuze b’e Muduuma abaakoseddwa enkuba omwabadde kibuyaga eyasudde amayumba...

Bajaasoomukoabanjaebintuekifsaulwokulira 220x290

Abanja bakoddomi be omutwalo

Omusajja asabye bakoddomi be omutwalo gwe yabawa ng'awasa mukyala we