TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Dr. bamuwangudde ku bwannabakyala n'akiika ensingo

Dr. bamuwangudde ku bwannabakyala n'akiika ensingo

By Ssennabulya Baagalayina

Added 8th August 2018

DOKITA Margaret Nabaggala Ntambaazi bamuwangudde ku kifo ky’obwassentebe bw’akakiiko k’abakyala b’eggombolola y’e Bukulula mu disitulikiti y’e Kalungu n’akiikira abanene ensingo.

Abakyala17 703x422

Dr.Ntambaazi mu mmotoka ye oluvannyuma lw'okuwangulwa mu kalulu

Dr. Ntambaazi yafunye obululu butaano n’awangulwa Josephine Nansamba Kirunda eyafunye obululu 31.

Okulonda kwakubiriziddwa Abdallah Kasim Tegawa nga kwabadde kwa kusimba mu mugongo.

Imelda Nazziwa yalondeddwa ku ky’omumyuka, Sarah Nakajja ye muwandiisi, Immaculate Nambuusi w’amawulire ne Molly Namusisi y’avunaanyizibwa ku byensimbi.

Abaavuganyizza nga baabadde bawagira Dr. Ntambaazi nabo baabammye ebifo ekyayongedde okunyiiza Ntambaazi n’agamba nti waabaddewo ekkobaane ly’okumuggya mu byobufuzi.

Dr. Ntambaazi yagambye nti teyandiwanguddwa naye abanene b’e Kalungu abaludde nga bamulwanyisa n’okumulemesa okutuusa obuweereza ku Bannakalungu ng’ayita mu byobufuzi be baamusudde.

Yagambye nti newankubadde nga muyivu alina ne diguli ssatu mu busawo kyokka buli lw’avaayo okuvuganya ng’abanene b’omu kitundu bamulwanyisa n’okumukomerera emisumaali, mu kifo ky’okutunula ku busobozi bwe.

“Nabadde nzikaanyizza ne mukyala Kirunda nti nze mpitewo ku bwassentebe ye ajje ng’omumyuka wange kuba ekiruubirirwa kyange kibadde kya kuvuganya entebe y’akakiiko ako ku ntikko naye abatanjagaliza olwakiwulidde ne banziggyirayo enjala,” Dr. Ntambaazi bwe yannyonnyodde.

“Kalungu bw’ateveemu ffitina za byabufuzi tajja kugenda mu maaso kubanga balekerera okutunuulira ensonga mu butuufu bwazo ne bagendera ku bibeera bibabuuliddwa abeenoonyezza ebyabwe,” Dr. Ntambaazi bwe yakkaatirizza n’agamba nti abakwasizza Katonda.

Wabula Kirunda ne banne baategeezezza nti okulonda kwabadde kusinziira ku busobozi n’obuweereza abantu bwe balina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...