TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba UMEME bagudde mu bukodyo abatuuze b'e Mulago bwebakozesa okubba amasannyalaze

Aba UMEME bagudde mu bukodyo abatuuze b'e Mulago bwebakozesa okubba amasannyalaze

By Moses Lemisa

Added 9th August 2018

Aba UMEME bagudde mu bukodyo abatuuze b'e Mulago bwebakozesa okubba amasannyalaze

Lip1 703x422

Aba UMEME nga basima waya ezaaziikibwa mu ttaka

UMEME egudde mu bukodyo bakamyufu b’e mulago bwe bakozesa okubba amasannyalaze waya baziyiza mu payipu z’amazzi  balina n’obudde obwenjawulo bwe bakozesa okwerabula ng’aba Umeme bagenze mu kitundu kyabwe .

Ab’ekitongole kya Umeme nga bakumiibwa poliisi ye Mulago ku kapapaali  bakoze ekikwekweto e Mulago  mu zooni ez'enjawulo okuli Katale zooni, Nalwewuuba, Kafeero , Bekeeri   gye baasanze waya eziyisibwa mu payipo z’amazzi , mu nguudo wakati, mu myala , mu kazambi, mu birime  nga bwoba tokigenderedde tosobola kumaanya nti waliwo waya ezitambuza amasannyalaze, bakozesa ne waya z’ebyempuliziganya .

 E Mulago bakamyufu balina obude (Alarm ) bwe bakozesa okwerabula nga waliwo aba umeme abali mu kitundu kyabwe  wabula abamu ku batuuze baategeezezza nti emiruka esatu egikola Mulago  gikwata gisooka mu Kawempe mu bubbi bw’amasannyalaze ng’eno buli muzigo ogukozesa amasannyalaze amabbe gusasula 10,000/  okudda wagulu.

Justine Nabatanzi ow’omu Kafeero zooni yategeezezza nti singa Umeme esitukiramu n’eteeka mu nkola etteeka ly’abakwatibwa nga babba amasannyalaze kyandiyambako naye abantu bangi bazze bakubwa amasannyalaze agatali mu mateeka ne bafa kyokka abantu ne bagalemerako .

Christopeher Muhwezi  akulira ebikwekweto by’ababba amasannyalaze mu Kawempe , yategeezezza singa okukwatibwa ng’obba amasannyalaze otwalibwa mu kkooti nga y’esigama kuteeka lya 1999 Umeme Act osibwa  emyaka etaano okudda wagulu.

Yayongeddeko nti  wiiki ebbiri emabega  baakola ekikwekweto e  Mulago  ne basalako amayumba agawerako kyokka baakyewunyizza okuddayo ne basanga bakamyufu bazzaako dda amasannyalaze

Yayongeddeko nti ebitundu ebisinga okubba amasannyalaze mu kawempe kuliko  Mulago  , Kyebando Nsooba , Bwaise , Kawempe mu katale zooni, Nabweru , Kisowera , Kiganda , Kizza , Kagoma , Kawanda , Mpererwe , Kanyanya , Makerere kikoni, Makerere mu kikumi kikumi  , Kaleerwe , Makerere kavule , Katanga n’ebirala .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwineatmagere 220x290

Bobi Wine ayogedde ku ngeri gye...

" Akawungeezi ka Mmande nnabadde mu kisenge kya wooteeri mwensula ne mpulira abantu nga bagamba ggulawo kyokka...

Long1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Bobi Wine, mukazi we amutunuddeko e Makindye gy’akuumirwa n’azirika olw’embeera gy’alimu. Omubaka Zaake bamuleese...

Candia 220x290

Nnannyini wooteeri ya Pacific e...

NANNYINI wooteeri ya Pacific Hotel mu kibuga Arua asambazze ebyayogeddwa poliisi nti emmundu ez’ekika kya SMG ebbiri...

Genda1 220x290

Baka balamu bange bannemesezza...

NZE Shifrah Nalwadda 25. Mu 2016 omusajja ayitibwa Akim yankwana era nange ne musiima ne mmukkiriza n’antwala ewuwe...

K3 220x290

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa:...

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa: Baagala Bobi Wine ayimbulwe