TOP

Abadde atigomya Kawempe bamuttidde mu bubbi

By Moses Lemisa

Added 9th August 2018

Abadde atigomya Kawempe bamuttidde mu bubbi

Wub1 703x422

OMUMENYI w’amateeka abadde mu kibinja eky’omutawaana  e Kawempe  bamusse  anyakula nsawo y’amukazi .

Siraje Musisi  abadde akola gwa kuttikula birime n’okubittika ku mmotoka mu katale k’oku kaleerwe wabula aludde ng’abatuuze bamulumiriza okubba mu kibinja ky’abavubuka abamenyi b’amateeka  mu bitundu bya kawempe eby'enjawulo nga banyakulira amassimu n’obusawo mu bulipagano bw’ebidduka  Mpererwe, Kaleerwe , Bwaise ne Kyebando.

Abamu ku basuubuzi bategeezezza nti abavubuka abattikula ebirime  abasinga bakkondo abawedde emirimu baagasseeko nti ku Lwokubiri  ku makya Musisi alina omukazi gwe yabadde anyakulako ensawo n’essimu kyokka omukuumi ku madduuka ga Kaleerwe Traders n'amulabuukirira mangu n’amukwata n'amukuba batuuni ezamuviriddeko okuzirika.

 

Oluvannyuma poliisi y’oku kaleerwe  yayitiddwa n’emutwala muddwaliro e Mulago gye yafiriidde mu kiro ekyakeesezza ku Lwokusatu ,

Abatuuze olwawulidde amawulire ng’okufa kwa Musisi ne bagamba nti OYO TUMUWONYE kuba poliisi ezze emukwata mu misango egitali gimu n’emuyimbula .

Huudu Mugalasi akulira eby’okwerinda mu Kibe zooni Musisi mwe  yasangiddwa ng’ataawa  yategeezezza nti ababbi bangi olumala okubba baddukira mu Kibe zooni  nga ku luno kirabika Musisi baamukubye nnyo , yagasseko nti ng’akakiiko ka LC abamaze okulonda  abagenda okulwanyisa abamenyi bw’amateeka  abanyakula ensawo z’abakazi n’amassimu ne baddukira mu Kib

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basawowebuse 220x290

Abasawo bawakanya ekya gavumenti...

Abeekibiina ky'abasawo bawakanyizza ekya Gavumenti okuwola musigansimbi ssente.

Laba 220x290

Muggya wange yanjokya amata n’adduka...

NNEEVUMA ekyantwala mu bufumbo nga nkyali muto kuba ssinga si mukisa gwa Katonda, nandibadde mufu kati. Nze Asiya...

Ssenga1 220x290

Omukyala yagaana okunjoleza

MUKYALA wange buli kintu awaka akikola ng’omukyala ddala naye yagaana okwoza engoye zange era tagolola. Nafuna...

Lamba 220x290

Enkuba be yayonoonedde ebyabwe...

EKIBIINA ky’obwannakyewa kidduukiridde abatuuze b’e Muduuma abaakoseddwa enkuba omwabadde kibuyaga eyasudde amayumba...

Bajaasoomukoabanjaebintuekifsaulwokulira 220x290

Abanja bakoddomi be omutwalo

Omusajja asabye bakoddomi be omutwalo gwe yabawa ng'awasa mukyala we