TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasodokisi bajjukidde olunaku lw'okufuusibwa kwa Yesu

Abasodokisi bajjukidde olunaku lw'okufuusibwa kwa Yesu

By Dickson Kulumba

Added 9th August 2018

Abasodokisi bajjukidde olunaku lw'okufuusibwa kwa Yesu

Kab1 703x422

SSABASUMBA w'Eklisia y'Abasodokisi mu ggwanga Metropolitan Jonah Lwanga yenyamidde olw'abantu ensangi zino okutwalirizibwa ebintu byensi ne besamba Katonda ekintu kyagambye nti kyonoonye eggwanga lino ng'okukikyusa kyetaagisa abantu okukyusa embeera mwebawangalira, Katonda lwajja okubawa obulamu obutaggwawo.

Bino abyogeredde Ku Klesia y'Okufuusibwa kwa Yesu( Holy Transfiguration Church) Ku kiggo kya Anoonya e Degeya- Kalagala mu Disitulikiti y'e Luweero mu Bulemeezi ku lwa Mmande August 6,2018.

“Tugenda netumanyiza embeera zaffe ez’omu nsi muno kakati n’obwongo bwaffe nebutwalirizibwa ensi eno n’ebirowoozo byaffe nebitwalirizibwa ebyo ebya buli kiseera ebya bulijjo n’embeera zaffe zonna nezigenda nga zikyamiririra ate netulowooza nti eyo gyebikyamiridde gyebirina okutambulira ng’ate si bwekiri.

Okukyusibwa n’okufuusibwa kw’obulamu bwaffe okwezza obuggya abantu tebakyabitegera buli omu yeyisa nga bwalabye ng’ate embeera ezo si za Katonda,” Bp Lwanga bweyabuliridde abakkiriza.

Mmisa eno yetabiddwako  Bp. Innocentios Byakatonda atwala Burundi ne Rwanda ng'ono akubiriza abazadde okutwala okusomesa abaana ng'ekikulu.

“ Okusomesa abaana Klesia n’abazadde benyinni balina okukitwala ng’ekikulu kubanga twolekedde okusomoozebwa Kunene singa abaana tebasomesebwa okubangulwa mu mbeera z’omwoyo ate n’omubiri kubanga bebasinga obungi,” Bp Byakatonda nga Munnayuganda bweyakubiriza ku ky’okusomesa abaana.

Olunaku luno lukuzibwa buli August 6, buli mwaka nga wano mu Uganda lukwatibwa Degeya awatandikira eddiini y'Obusodokisi.

Ye Viika w'Eklisia Fr. Paul Mutaasa asabye Abasodokisi b'ekiggo kino okubeerako ne Pulojekiti zebakola ate okufuna Ssente ezitambuza emirimu gya Mukama.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mema 220x290

Eyanoonyeza mu Bukedde ayanjudde...

ENDUULU ez’olulekereeke zaakubiddwa abeetabye ku mukolo nga Hadijah Namakula omutunzi w’engoye ayanjula bba Musa...

Lina 220x290

Balamu bange bannemesa eddya

NZE Grace Kentuwa 28, mbeera mu Zooni 7 e Makerere Kikoni mu muluka gwa Kawempe. Twasisinkana ne baze mu 2014 e...

Sadblackcouple 220x290

Omwami wange alina buzibu ki?

OMWAMI wange ansobedde. Nga tugenda okwebaka tayagala kwegatta naye mu kiro ssaawa nga 9:00 mu matumbibudde ankwata...

Rupiny1 220x290

Africell eyiye kavu wa bukadde...

KAMPUNI y’amasimu eya Africell etadde kavu wa bukadde 15 mu mpaka z’omupiira ez’okukuza amazaalibwa ga Yesu ezitegekeddwa...

Title 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YATUUSE DDA...

Militale etandise ebikwekweto bya Ssekukkulu era eyodde 200 abatigomya Kampala n’emiriraano.