TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Charles Peter Mayiga yebazizza obuganda okwetaba mu Jubireewo

Charles Peter Mayiga yebazizza obuganda okwetaba mu Jubireewo

By Dickson Kulumba

Added 9th August 2018

Charles Peter Mayiga yebazizza obuganda okwetaba mu Jubireewo

Kib2 703x422

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga yebazizza Obuganda olw’okukwatira awamu mu kutegeka emikolo gy’amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 25 nagamba nti kino kyayongedde okunyweza omwoyo gwa Buganda.

Bino yabyogeredde Bulange- Mmengo ku Lwokubiri August 7, 2018 ku mukolo kweyatikulidde abatuuze okuva mu maggombolola ag’enjawulo okuva e Buddu ne Busiro abaleese oluwalo lwabwe okuddukirira emirimu egikolebwa Obwakabaka nayongera okwebaza abantu olw’okwaniriza obulungi abagenyi ba Kabaka abaava e Ghana.

“Mu myaka 32 bukya Omulangira Mutebi ava mu buwanganguse kati nga n’eddaala ery’Obulangira yalivaako nga kati ye Kabaka waffe. Mu myaka egyo 32, Buganda yakafuna emikolo egyamaanyi ndowooza essatu;- ogusooka gweegwo ogw’e Naggalabi nga July 31,1993, omukolo ogw’okubiri nze gwendowooza ogwamaanyi gwaliwo nga August 27,1999 sirowooza nti Uganda mwali mubaddemu omukolo bwegutyo bukya twefuga ate ogw’okusatu gwe gwa Jubireewo gwetwakamaliriza ng’ettutuumu Buganda lyefunye livudde ku mwoyo gwa Buganda ogutafa abantu gwebooleseza,” Mayiga bweyebazizza abantu.

Mayiga yayongedde neyebaza abaliko ba Katikkiro ku Mulembe Omutebi Okuli Mayanja Nkangi, Joseph Mulwanyammuli, Ying. JB Walusimbi n’abalala, Baminisita, abakungu ku mitendera egy’enjawulo olw’omulimu gwebaakola era n’abali mu bifo bino gwebakyakola okutambuza emirimu gy’Obwakabaka.

“ Njagala tusosowaze okukola mu myaka gino emirala egya Jubireewo gyetutandise kubanga ne Federo nebwenejja olina kubeera ng’okola, Katikkiro yanaleeta emmere ku ssowaani yo? Naye okukola kikulu. Temugwamu ssuubi nga muli wamu, federo tujja kugifuna,” Mayiga bweyakunze abantu okunyikirira okukola.

Ye Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki yasabye abaami ba Kabaka okulondoola emirimu gyonna egikolebwa mu bitundu byabwe nga babikolamu alipoota zireetebwa e Mmengo okusobola okugonjoola okusomoozebwa kwonna.

Aba Mutuba XVIII Kibinge nga bakulembeddwamu Hajj Mohammad Musesere bebasinze okuleeta ensimbi 3,025,000/-, Mutuba XXI Lwabenge 918,000/-, ab’ekibiina Buganda Bumu n’eminywanyi 900,000/- n’abaana abato 110,000/-, aba St. Charles Lwanga Technical Institute Butende, Ab’e Nsangi- Busiro 2,540,000/- n’abe Kitanda nabo baleese ensimbi nga zonna wano ezaleteddwa e Mmengo zabadde 8,723,700/-

Omukolo gwetabiddwako Baminisita b’Obwakabaka abawerako era ng’abayizi okuva mu masomero ag’enjawulo basanyusizza abantu abetabye ku mukolo guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basawowebuse 220x290

Abasawo bawakanya ekya gavumenti...

Abeekibiina ky'abasawo bawakanyizza ekya Gavumenti okuwola musigansimbi ssente.

Laba 220x290

Muggya wange yanjokya amata n’adduka...

NNEEVUMA ekyantwala mu bufumbo nga nkyali muto kuba ssinga si mukisa gwa Katonda, nandibadde mufu kati. Nze Asiya...

Ssenga1 220x290

Omukyala yagaana okunjoleza

MUKYALA wange buli kintu awaka akikola ng’omukyala ddala naye yagaana okwoza engoye zange era tagolola. Nafuna...

Lamba 220x290

Enkuba be yayonoonedde ebyabwe...

EKIBIINA ky’obwannakyewa kidduukiridde abatuuze b’e Muduuma abaakoseddwa enkuba omwabadde kibuyaga eyasudde amayumba...

Bajaasoomukoabanjaebintuekifsaulwokulira 220x290

Abanja bakoddomi be omutwalo

Omusajja asabye bakoddomi be omutwalo gwe yabawa ng'awasa mukyala we