TOP

Abawakanya Besigye baagala kutandika kibiina

By Musasi wa Bukedde

Added 9th August 2018

Abawakanya Besigye baagala kutandika kibiina

Gab1 703x422

ABABAKA ba Palamenti aba FDC abawakanya Patrick Oboi Amuriat ne Dr. Kiiza Besigye bakkaanyizza nti bagenda kutandika ekibiina ekirala. Ababaka 29 ku 38 aba FDC abali mu Palamenti baatuuzizza olukiiko olwakubiriziddwa Winfred Kiiza, abadde akulira oludda oluvuganya Gavumenti ne basalawo okutandika ekibiina ekiggya kuba gye bali babalaze nti tebabaagala.

Ensonda okuva mu lukiiko olwatudde eggulo ku Palamenti zaategeezezza nti bakkaanyizza nti bagenda kulekeraawo okuwaayo 500,000/- buli mubaka z’abadde awa ekibiina buli mwezi. Baakirabye nti ssente zino bwe bongera okuziwaayo ate zijja kweyambisibwa ababalwanyisa ku kitebe e Najjanankumbi.

Omwezi babadde bawaayo 14, 500,000/- bonna awamu. Ababaka abaaweebwa obwaminisita mu Gavumenti y’ekisiikirize n’obwassentebe bw’obukiiko, kyasaliddwawo nti bonna balina okulekulira ebifo byabwe naye nga bakikola omu ku omu.

Mu 2020 kyasaliddwawo nti lwe bagenda okuyingira ekibiina kyabwe ekiggya nga bali wansi w’obukulembeze bwa Winnie Kiiza. Wadde nga waliwo ababaka abaabadde baagala balangirire ekibiina mu kiseera kino, kyokka baawabuddwa nti kino kibeera kitegeeza nti bafiirwa ebifo byabwe.

Ekyabasazizzaawo omwaka gwa 2020, lwa nsonga nti omwaka oguwedde Palamenti yakola ennongoosereza mu mateeka agasobozesa omubaka okukyusa okuva mu kibiina ekimu okudda mu kirala bw’abeera mu mwaka ogusembayo mu kisanja.

Okuva pulezidenti wa FDC, Amuriat lwe yalangirira abakulembeze abaggya mu Palamenti azze afuna okuwakanyizibwa okuva mu babaka b’ekibiina abamu. Elijah Okupa (Kasilo) yavaayo ku Mmande n’ategeeza nti basobola bulungi okutandika ekibiina ekiggya.

Yategeeza nti FDC kye yali ekola okweggyako ababaka abataawagira Amuriat kyali kibi kubanga ababaka abasinga baalonda Mugisha Muntu ku bwapulezidenti. Enkyukakyuka ezaakolebwa zaaleeta Mubarak Munyagwa (Kawempe South) ku bwassentebe bwa COSASE, akakiiko akavunaanyizibwa okulondoola ebitongole bya Gavumenti.

Amyukibwa Moses Kasibante (Lubaga North). Betty Nambooze (Mukono Munisipaali) mukiise mu Palamenti y’amawanga agaafugibwako Bungereza. Francis Mwijukye yalondeddwa ku bwa kamisona wa Palamenti ng’adda mu bigere bya Cecilia Ogwal n’abalala.

EBY’OKULEMESA MUNYAGWA BABIVUDDEKO Wadde ng’ababaka baabadde beesomye okulemesa okulondebwa kwa Munyagwa n’abalala abaagudde mu bifo, oluvannyuma lw’okubataputirwa amateeka, baafundikidde bakkirizza nti tebalina kinene kye basobola kukolawo.

Emu ku nsonga gye baabadde beesibyeko ey’okubeera nga bassentebe b’obukiiko bwa Standing Committee nga COSASE, PAC, LGAC ekisanja kyabwe kya myaka ebiri n’ekitundu. Kino kitegeeza nti baabadde balina kukyusibwa mu December wa 2018. Kyokka oluvannyuma lw’okwetegereza amateeka agabafuga, baakizudde ng’emyaka ebiri n’ekitundu gikwata ku kya kubeera mmemba w’akakiiko.

Kyokka obwa ssentebe omuntu asobola okukyusibwa ekiseera kyonna. Eno y’ensonga lwaki ne NRM yakyusa Muhammad Nsereko (Kampala Central) okuva ku bwassentebe bwa Equal Opportunities ng’emyaka ebiri n’ekitundu tekinnaggwaako. ABA NRM ABANYIIVU BABASUUBIZZA OKUBEEGATTAKO Ensonda zaategeezezza nti waliwo ababaka ba NRM abanyiivu naddala abaawakanya okukyusa Ssemateeka abaasuubizza okwegatta ku kibiina ekiggya ekigenda okutandikibwawo aba FDC.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uni 220x290

RDC ayingidde mu nsonga y'omuyizi...

OFIISI ya RDC e Kalungu ne Poliisi bawaliriziddwa okuyingira mu nsonga z'omuyizi ategeerekeseeko erya Ssembuusi...

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...