TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri okukyusibwa kwa Julius Luyima gye kuwadde ab'ebidduka akamwenyumwenyu

Engeri okukyusibwa kwa Julius Luyima gye kuwadde ab'ebidduka akamwenyumwenyu

By Joseph Makumbi

Added 9th August 2018

Engeri okukyusibwa kwa Julius Luyima gye kuwadde ab'ebidduka akamwenyumwenyu

Lu1 703x422

Luyima ng'ayogera

ERINNYA Julius Luyima, libadde lyafuuka kirooto eky’entiisa eri abavuga ebidduka mu Kampala, okuva kw’asindika ekigaali okutuuka ku ddereeva w’emmotoka esinga obunene. Abanene n’abatono abadde abakaabya kye kimu.

Enkyukakyuka za poliisi ezaakoleddwa omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola ku Mmande ya wiiki eno, mwe yatwalidde ne Luyima n’amuweereza e Masindi ng’amuggya ku poliisi ya CPS mu Kampala mw’abadde amaze emyaka egikunukkiriza mu ebiri.

Okuva lwe yakyusiddwa, abagoba b’ebidduka naddala aba bodaboda, bazina gunteese. Abeemanyi bwe beesisinkana we batandikira emboozi nga buli omu akulisa munne nti, ‘Owaaye kulika Luyima’. Mu kwekulisa kuno, abamu baatandise n’okuvugisa ekimama, bamenya amateeka mu bugenderevu olw’ensonga tewali agenda kubakwatako.

Abamu baagunjizzaawo n’ehhombo ezigamba nti, ‘Twawonye Luyima ka twegazaanye Kampala waffe’. Luyima ebikwekweto bye, abadde abikolera olunaku lulamba nga tebikka wansi wa bina (4) ng’amanyi n’okubikola ng’obudde buzibye.

Bamulumiriza nti, mmotoka emu abadde agikwata emirundi egisoba mu ebiri olunaku ate nga buli lw’agikwata okuvaayo erina okusasula. Luyima mu Kampala abadde agenda kuwezaamu emyaka ebiri wabula okuva lwe yajja bingi ebibadde bikyuse wabula era bangi abakaaba. Jack Mbaziira ddereeva wa takisi ku siteegi y’e Kansanga: Nnamala ennaku mwenda mu kaduukulu ku CPS lwa kuvuga mmotoka nga pamiti yange erimu kiraasi emu nga n’okutuusa kati nkyeyanjula ku CPS.

Luyima yannyimiriza n’ansaba mmulage pamiti, kye nakola ng’eriko obumanyirivu bwa myaka 10 wabula ng’erina kiraasi emu yokka. Yali ayagala er- imu kiraasi ya DL nga sigirina n’alagira ntwalibwe ku CPS gye yanteera mu kaduukulu okumala ennaku mwenda okutuusa DPC wa CPS, Joseph Bakaleke lwe yajja ne mmuyitiramu ne banta kw’olwo,” Mbaziira bwe yagambye.

Mike Lubwama akolera ku siteegi y’e Ggaba: Luyima abadde yafuuka mukozi wa ssente. Bw’abadde agenda ku Mini Price awasinga okubeera omugotteko, mmotoka zonna z’asanga zirinze okuyingira paaka ng’aziyoola. Mmotoka ekwatibwa abadde agiggyako ssente eziri wakati wa 150,000/- ne 200,000/- kyokka nga tezibaddeko lisiiti.

ABA BODABODA NABO BA MUKAABA Siraje Mutyaba, ssentebe wa Century Bodaboda Riders’ Association mu Kampala Central: Lwa butaba na busobozi twandibadde tusala n’embuzi oba ente ne twekulisa Luyima.

Aba bodaboda bangi abali mu kkomera e Luzira lwa Luyima. Ababadde bagenda ku CPS okweyimirira bannaabwe nabo abadde abakwatirayo. “Omulimu gwa bodaboda abadde yagufuula lusuku, akwata bodaboda n’akusaba 200,000/- n’okubyamu okugenda mu kkooti osasule 600,000/- oba akakadde ng’olaba asasudde eza Luyima osinga ate nga teziriiko lisiiti,” Mutyaba bwe yagambye.

EBIFO MW’ABADDE ASI NGA OKUKOLERA Abadde yawamba Mini Price, ku bitaala bya Entebbe Road okumpi ne Shoprite ne ku bitaala bya Jinja Road.

Wabula Luyima alina enkola z’abadde yaleeta mu Kampala ezibadde zongedde empisa mu baddereeva. Okugeza ddereeva nga talina kuyita bantu we basalira nga tayimiridde wadde tewali basala era bangi bakwatiddwa. Yaleeta ekkomera ly’akamotoka ke babadde baakazaako ‘Nalufeenya’ nga muno mw’abadde atambuliza abasibe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...