TOP

Muyigirize abayizi ebyemikono - Sseninde

By Musa Ssemwanga

Added 9th August 2018

Muyigirize abayizi ebyemikono - Sseninde

Tip1 703x422

Omuyizi ng’alaga minisita Sseninde (mu ggomesi) bwe bakola keeki. Owookubiri ku ddyo ye Rachel Makumbi.

MINISITA omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako Rose Mary Nansubuga Sseninde akubirizza amasomero okuyigiriza abayizi ebyemikono ne yennyamidde olw’abamu obutafaayo ku nsonga eno oba okuyamba abayizi okwenyigira mu mizannyo egy’enjawulo okusobola okutumbula ebitone byabwe.

Yabadde ku ssomero lya Makindye Junior Academy ng’aggulawo mu butongole ekifo abayizi we basomera emigaati, keeki, amandaazi, kabalagala n’ebirala ku Lwomukaaga. Yeebazizza abakulira essomero lino okutandikawo enkola eno.

Dayirekita w’essomero lino, Rachel Makumbi yagambye nti olw’ebbula ly’emirimu eririwo, baasalawo okusomesa abayizi baabwe ebintu bino ebiyinza okubayamba mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali...

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali ku lulimi oluganda

Hib2 220x290

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi...

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi

Kab2 220x290

Desabre ayogeeyoge kati tulinze...

Desabre ayogeeyoge kati tulinze kawoowo

Deb2 220x290

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo...

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo ogunneetoolodde

Kat2 220x290

Alunda enkoko ez’ennyama n’amagi...

Alunda enkoko ez’ennyama n’amagi weekwate ekirungo kya ‘INTRACO