TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Palamenti etadde Rugunda ku nninga annyonnyole ekiganyi gav't okumutwala mu kkooti

Palamenti etadde Rugunda ku nninga annyonnyole ekiganyi gav't okumutwala mu kkooti

By Muwanga Kakooza

Added 10th August 2018

Palamenti etadde Rugunda ku nninga annyonnyole ekiganyi gav't okumutwala mu kkooti

Lip1 703x422

Ruhakana Rugunda ng'annyonnyola

KATIKKIRO wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda abadde mu palamenti ababaka ne bamussa ku nninga annyonnyole lwaki gavumenti eruddewo okutwala eyali  omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura mu kkooti.

Bino byabaddewo ababaka bwe baabadde babuuza Katikkiro Rugunda ebibuuzo n’assibwa ku  nninga  annyonnyole ekigaanyi gavumenti okutwala Kayihura mu kkooti.

Kyokka Rugunda yazzeemu: ‘’Mukimanyi nti eyali omuduumizi wa poliisi ono mukungu mu magye era akwatiddwa  mu ngeri egwanidde okuyisibwamu omukungu ng’oyo.’’

Kayihura yakwatibwa June 13 2018 era okuva olwo ali mu nkambi y’amagye   e Makindye oluvannyuma lw’okukwatibwa ng’abuulirizibwako ku misango gavumenti gy’etevangayo kunnyonnyola mu butongole.

Kyokka abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu omuli bannamatteeka n’abatunuulizi abalala baludde nga beemulugunya nti Kayihura ne banne bandibadde batwalibwa mangu mu kkooti kuba etteeka liragira nti kirina kukolebwa mu bbanga eritasukka nnaku bbiri okuva omuntu lw’akwatibwa.

Ku nsonga z’abaali mu ggye ly’obwanakyewa erwanyisa abajjambula ba kyewaggula Kony e Teso abamanyiddwa nga ‘Arrow Boys’ , Dr. Rugunda yagambye nti abaali mu kibinja kino bebazibwa olw’omulimu gwe bakola kyokka gavumenti bw’enafuna ssente ejja kubalabamu mu ngeri ey’enjawulo.

Ng’addamu ekibuuzo ky’okulwawo okusasula abaali abakozi ba gavumenti pensoni Rugunda yagambye nti minisitule y’abakozi ba gavumenti ejja kunyonnyola bwe wabaawo abaakola obulagajjavu bakangavvulwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basawowebuse 220x290

Abasawo bawakanya ekya gavumenti...

Abeekibiina ky'abasawo bawakanyizza ekya Gavumenti okuwola musigansimbi ssente.

Laba 220x290

Muggya wange yanjokya amata n’adduka...

NNEEVUMA ekyantwala mu bufumbo nga nkyali muto kuba ssinga si mukisa gwa Katonda, nandibadde mufu kati. Nze Asiya...

Ssenga1 220x290

Omukyala yagaana okunjoleza

MUKYALA wange buli kintu awaka akikola ng’omukyala ddala naye yagaana okwoza engoye zange era tagolola. Nafuna...

Lamba 220x290

Enkuba be yayonoonedde ebyabwe...

EKIBIINA ky’obwannakyewa kidduukiridde abatuuze b’e Muduuma abaakoseddwa enkuba omwabadde kibuyaga eyasudde amayumba...

Bajaasoomukoabanjaebintuekifsaulwokulira 220x290

Abanja bakoddomi be omutwalo

Omusajja asabye bakoddomi be omutwalo gwe yabawa ng'awasa mukyala we