TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Famire eraajanye olw'okubamma alipoota ku nfa y'omuntu waabwe.

Famire eraajanye olw'okubamma alipoota ku nfa y'omuntu waabwe.

By Paddy Bukenya

Added 10th August 2018

Famire eraajanye olw'okubamma alipoota ku nfa y'omuntu waabwe.

Kap1 703x422

Aba Famire nga bali mukusoberwa

AB'OLUGANDA lwa ssemaka gwebatta ne bamusuula mu Nyanja babammye alipoota yeddwaliro gyebasasula emyezi ebbiri emabega.

Wadde nga aboluganda lw'omugenzi Kalooli Kyamaanyi 45 gwebatta ne bamusuula mu mazzi, baasasulira alipoota yomusawo okukebera ekyatta omuntu waabwe naguno gwaka bakyagibanja poliisi naye bakyagibammye kati emyezi ebbiri egiyise.

 

Kalooli Kyamaanyi omutuuze we Buwunga mu muluka gwe Bongole mu Buwama town council eMpigi yattibwa nga 4/July omwaka guno omulambogwe ne gusangibwa mu Nyanja e Katebo gyeyali agenze okuvuba amagye ga UPF ne gamukwata kyokka nga wayise ekiseera ne bazuula omulambogwe nga gujjudde ebiwundu nga nensingo bagimenye.

Kino kyaletawo okubusaabubusa eri abatuuze n'aboluganda lwe nga bagamba nti yattiddwa abajaasi abalondoola envuba embi ku myalo gye Buwama era poliisi n'etwala omulambo gwe mu ddwaliro e Gombe okukakasa ki ekyamusse oluvanyuma lw'aboluganda okugaana okuziika omuntu waabwe nga balumiriza amagye okumutta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mema 220x290

Eyanoonyeza mu Bukedde ayanjudde...

ENDUULU ez’olulekereeke zaakubiddwa abeetabye ku mukolo nga Hadijah Namakula omutunzi w’engoye ayanjula bba Musa...

Lina 220x290

Balamu bange bannemesa eddya

NZE Grace Kentuwa 28, mbeera mu Zooni 7 e Makerere Kikoni mu muluka gwa Kawempe. Twasisinkana ne baze mu 2014 e...

Sadblackcouple 220x290

Omwami wange alina buzibu ki?

OMWAMI wange ansobedde. Nga tugenda okwebaka tayagala kwegatta naye mu kiro ssaawa nga 9:00 mu matumbibudde ankwata...

Rupiny1 220x290

Africell eyiye kavu wa bukadde...

KAMPUNI y’amasimu eya Africell etadde kavu wa bukadde 15 mu mpaka z’omupiira ez’okukuza amazaalibwa ga Yesu ezitegekeddwa...

Title 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YATUUSE DDA...

Militale etandise ebikwekweto bya Ssekukkulu era eyodde 200 abatigomya Kampala n’emiriraano.