Bya Tonny Kalyango
Vicent Mugenyi Menyeka 37, ow’okukyalo Kayunga mu ggombolola ye Mukungwe mu disitulikiti y’eMasaka yaali mu kulaajana olw’okulemererwa okufuna obuyambi okuva ku poliisi enkulu e Masaka oluvannyuma lw’okukubibwa akakebe ka ttiyagaasi ak’amukwata okugulu nga mu kiseera kino kutandise okuvunda olw’okubulwa obujjanjabi mu ddwaliro ekkulu e Masaka.
Mugenyi ategeezezza Bukedde nti nga 8 July bwe yali ayita ku kisaawe kya Masaka Recreation Ground waliwo okwekalakaasa oluvannyuma lw’omupiira wakati wessaza ly’eBuddu ne Ssese abaserikale baakasuka akakebe ka ttiya gaasi akaamukuba okugulu n’obubajjo bwako nebumuyingira mu mubiri ekireetedde okugulu okutandika okuvunda kyokka poliisi ne gaana okumuyamba.
“Bwebankuba n'ewalula n'engenda ku poliisi abaserikale webanziggya ne bantwala e Mulago gye bansuula kyokka nayo saafunayo bujjanjabi nga n'eddagala lye bampaandiikira sisobola kuligula” bweyategeezezza.
Afande Lameck Kigozi ayogerera Poliisi mu bitundu by'e Masaka ategeezezza nti baafuna okwemulugunya kwa Mugenyi kyokka ne bamuwabula agende mu kkooti awaabire Omuwaabi w’agavumenti kubanga abaserikale baali ku mirimu mitongole ate nga n’obuyambi bwayagala poliisi tesobola kubumuwa kubanga tewali bukakafu kw'ebyo by’ayogera.