TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baleese empingu ezaakozesebwa mu kutta omukazi ewa Ssebuufu

Baleese empingu ezaakozesebwa mu kutta omukazi ewa Ssebuufu

By Musasi wa Bukedde

Added 10th August 2018

Baleese empingu ezaakozesebwa mu kutta omukazi ewa Ssebuufu

Dik1 703x422

Ssebuufu ali ku musango

OLUDDA oluwaabi mu musango gw’okutta omusuubuzi Betty Donah Katusabe luleese ebizibiti omubadde empingu ezigambibwa nti ze zaakozesebwa mu kutulugunya n’okutta omukazi ono.
 
Okusinziira ku yakulira mu okunoonyereza ku musango guno Detective AIP Peter Warya empingu zino yazisanga mu nnyumba ya Paul Tasingika avunaanibwa n’omugagga Mohammad Ssebuufu atunda mmotoka ku Pine mu kutta Katusabe.
 
Warya yagambye nti bwe baagenda mu nnyumba ya Tasingika okunoonya obujulizi, empingu baagisanga agisibye mu kiteeteyi kya mukyala we ng’agikwese mu keesi.
Empingu zino ziragiddwa omulamuzi Anglin Ssenoga nga ziriko n’ebisumuluzo byazo era ne zikkirizibwa ng’ekizibiti mu musango guno.
 
Agambye nti mu keesi mwalimu n’essimu nnya Tasingika ze yali akwese nga byonna byatwalibwa ku poliisi abakugu okubyekebejja bazuule b’ani be yakubira ku lunaku Katusabe lwe yattibwa.
 
Oludda oluwaabi era luleese ebizibiti by’amasimu ebibadde bisibye omusango oluvannyuma lw’okumala omwezi mulamba nga balinda CMI okubibakwasa.
Muno mubaddemu amasimu g’abavunaanibwa poliisi ge yabaggyako agagambibwa nti ge baakozesa okwogeraganya nga October 23, 2015 Katusabe lw’attibwa.
 
Warya yabadde mujulizi wa 24 mu musango guno oguvunaanibwa abantu munaana abakulemberwa Ssebuufu, Damaseni Yoweri, Ssentongo, Kitayimbwa, Steven Lwanga, Shaban Odutiu, Philip Mirambe, Steven Kayiza ne Paul Tasingika,
Bano bagambibwa okuba nga batta Katusabe olw’abanja lya bukadde mwenda ezaali zisigadde ku mmotoka Ssebuufu gye yamuguza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kuba 220x290

Munnayuganda atuuziddwa nga omusumba...

MUNNAYUGANDA eyalondebwa okufuuka Omusumba w’essaza ly’Eklezia erya Aliwal e South Afrika atuuziddwa mu kitiibwa,...

Br1 220x290

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto...

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto Gama De Olivieira amanyiddwa nga Bebeto eyali emmunyenye ya Brazil

Carol 220x290

Omwawule akoze siteetimenti ekontana...

REV. Isaac Mwesigwa bwe yaggyiddwa e Soroti yatwaliddwa butereevu ku kitebe kya poliisi e Naggulu mu Kampala n’akola...

Jit1 220x290

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka...

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka abagambibwa okukuliramu okwekalakaasa e Kawempe

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...