TOP

Batongozza lipoota ku baana abatulugunyizibwa

By Benjamin Ssebaggala

Added 11th August 2018

GAVUMENTI etongozza alipoota eraga nti omuwendo gw’abaana abatulugunyizibwa mu ggwanga gweyongedde, Hajat Janat Mukwaya, minisita w’ekikula ky’abantu n’alabula abaakola lipooti bakomye okukozesa ebifaananyi ebivvoola ekifaananyi ky’abaana n’eggwanga.

Dont 703x422

Okuva ku ddyo; Bigirimaana, Nakiwala, Hajjat Mukwaya ne Dr. Mulenga nga batongoza lipoota.

Mukwaya olwakutte ekitabo kya lipooti n’abuuza lwaki eyakuba ekifaananyi ekiri ku ddiba ly’ekitabo teyasooka kulagira mwana n’alongoosa ennyindo mu kifo ky’okumukuba ekifaananyi ekimuswaza so nga kigenda kubeerawo obulamu bwe bwonna.

Omukolo gwabadde ku Imperial Royal Hotel mu Kampala ku Lwokuna. Gavumenti ya Uganda okuyita mu minisitule y’ekikula ky’abantu, yatongozezza lipooti evudde mu kunoonyereza okwakoleddwa ebitongole bya Gavumenti eby’enjawulo n’abagabi b’obuyambi.

Okutulugunyizibwa kuno kwayawuddwaamu emiteeko esatu, okuli okukabasanyizibwa, okukuba omwana n’afuna obuvune ku mubiri oba okutulugunyizibwa mu birowooza omwana n’afuna okweraliikirira oba okwennyamira buli kiseera.

Okunoonyereza kulaga nti obugwanjuba bwa Uganda ky’ekitundu ekisinze okuvaamu abaana abatulugunyizibwa. Uganda yonna ku bantu abakulu bana b’osanga, abasatu babeera baafuna okutulugunyizibwa okw’enjawulo mu buto.

Abantu basatu b’osanga kubeerako omu nga yayita mu kutulugunyizibwa waakiri ebika bibiri ku biragiddwa waggulu.

Ng’oggyeeko Gvumenti ya Uganda, okunoonyereza kwawagiddwa ebitongole n’ebibiina ebigaba obuyambi okuli USAID, U.S. Centers for Disease Control and Prevention (CDC) ne UNICEF nga kwakoleddwa okwetoloola Uganda yonna.

Omubaka wa Amerika mu Uganda Deborah R. Malac yategeezezza nti, ekisinga okuluma kwe kulaba nti omwana abeera atulugunyiziddwa ate bamuteekako olukongoolo n’ayongera okwekyawa.

Yagambye nti abantu bonna tebasaana kuwuliriza buwuliriza abaana abatulugunyiziddwa wabula basaanye okuloopa ebikolwa ebyo mu b‘obuyinza.

Malac yakiggumizza nti Amerika yaakugenda mu maaso n’okuwagira enteekateeka za Uganda mu kulwanirira eddembe ly’abaana.

Yasabye nti ebizuuliddwa mu kunoonyereza kati bisaana babiggye mu bigambo batandike okubiteeka mu nkola.

Minisita omubeezi ow’abavubuka n’abaana Florence Nakiwala Kiyingi yagambye nti waakugenda mu maaso ng’ateeka mu nkola ekiragiro kya Gavumenti okuggala amaka gonna ageefudde nti galabirira abaana so nga mu butuufu babatulugunya.

Akiikirira Unicef mu Uganda, Dr. Doreen Mulenga yategeezezza nti ebyazuuliddwa byeraliikiriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...