TOP
  • Home
  • Agawano
  • Munneegatteko tugobere ddala siriimu - Museveni

Munneegatteko tugobere ddala siriimu - Museveni

By Ssennabulya Baagalayina

Added 11th August 2018

PULEZIDENTI Museveni azzeemu okukubiriza Bannayuganda bamwegatteko mu lutalo lw’okufufuggaza siriimu, omwaka 2030 gutuuke ng’abufumwa bufumwa. Kampeyini eno agituumye Presidential Fast Track Initiative On Ending Aids 2030’.

Download 703x422

Emikolo gy’okutongoza kaweefube ono mu disitulikiti 23 ezikola amasekkati ga Uganda gyabadde Kalungu.

Museveni yakiikiriddwa omumyuka we Edward Kiwanuka Ssekandi. Yabadde ne minisita ow’ensonga z’Obwapulezidenti Esther Mbayo n’Owebyobulimi, obulunzi n’obuvubi Vincent Bamulangaki Ssempijja n’ababaka ba palamenti.

Abafumbo Sulaiman Ssembatya ne Sharifah Namaganda be baabadde eky’okuyigirako ky’olunaku.

Bassembatya beewuunyisizza abakungu n’abantu baabulijjo olw’engeri gye baafunamu obuvumu bw’okubeeragana ng’omwami talina kawuka ng’ate omukyala akalina.

Abafumbo beewaddeko obujulizi nti beeyambisa amagezi g’abakugu ne bazaala omwana atalina kawuka kati ng’alina emyaka 13.

Akulira ebyobulamu e Kalungu Ronald Reagan Mutebi, omubaka omukazi owa Kalungu Aisa Ssekindi ne ssentebe wa LC 5 Richard Kyabaggu baalaze okutya olw’akawuka ka siriimu okwegiriisiza mu Kalungu nga ku buli bantu 100 kuliko 13 abalwadde.

Minisita Ssempijja yagasseeko nti abaana 720 balina obulwadde era kwe kutandikawo ensawo eneebayamba mu byetaago byabwe.

Ensawo eno baagitongozza n’emisinde egyakuliddwa Omulangira David Kintu Wasajja ne bakuhhaanya obukadde 50.

Ate Dr. Mutebi yagambye nti abantu abakulu 14,000 be bali ku ddagala.

Ssekandi yasomye ekiwandiiko kya Pulezidenti, mwe yasabidde abasajja okubeera ku mwanjo mu kuziyiza siriimu nga beewala okuganza abawala abatanneetuuka n’abakyala abato.

Yakubirizza abantu okunyiikira okwekebeza omusaayi n’okwejjanjaba. Museveni yasabye abantu okwekulaakulanya mu byenfuna kiibasobozese okubeera n’ensimbi ezigula eddagala n’ebyokulya nga bafunye obuzibu oba okulwala.

Ssempijja ne minisita Mbayo bajjukizza Bannayuganda nti eddagala eririwo teriwonya siriimu wazira limuweweezaako buweweeza ng’ekyokubwekuuma ky’ekisinga obukulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lungujja 220x290

Ab'e Lungujja bafunye Ssentebe...

Kyaddaki Ssendawula zooni e Lungujja mu munisipaali y'e Lubaga efunye ssentebe

Kiibi 220x290

Fr. Kiibi avumiridde abakulisitu...

FAAZA Deo Kiibi asinzidde mu Kitambiro kya Missa gyayimbye mu kisomesa ky'e Kasangati, n'alabula abatanawasa okusooka...

Takoze 220x290

Waswa Bbosa takoze nkyukakyuka...

OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga eyabatasuussa myaka 23 afulumizza ttiimu etandika egenda okuttunka ne South Sudan...

Cahill 220x290

Tim Cahill akaabye, ng'asiibula...

Cahill yali muwuwuttanyi wa ntomo, ateeba ggoolo era nga yeesigamwako ttiimu y'eggwanga eya Australia mu mupiira....

Mutebile2 220x290

Mutebile aleese ebiwandiiko ebitakwatagana...

Ebiwandiiko ebimu obwedda biteereddwako emikono gy'abantu (signature) kyokka nga tekuli mannya gaabwe nga kino...