TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Kabila atadde entebe y'obwapulezidenti: 'Sigenda kuddamu kwesimbawo'

Kabila atadde entebe y'obwapulezidenti: 'Sigenda kuddamu kwesimbawo'

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2018

ABASUUZIZZA Pulezidenti wa Congo Joseph Kabila 47, entebe asazeewo agite oluvannyuma lw’emyaka 17 n’ateeyongeza kisanja. Kyokka abamu ku baagala okumuddira mu bigere abalina amaanyi Kabila abagaanyi okuyingira mu ggwanga kubanga babadde badduka mu ggwanga lino.

Longa 703x422

Joseph Kabila akitadde

Klezia mu Congo ebadde nsaale okukulemberamu kaweefube w’okusindiikiriza Kabila okuva mu buyinza.

Abeesowoddeyo okuvuganya buli kiseera omuwendo gweyongera okuli Emmanuel Ramazani Shadary ng’ono Kabila gwe yawanzeeko eddusu.

Eyali omumyuka wa Kabira, Jean-Pierre Bemba abadde attunka n’emisango gy’ekitta bantu mu Kkooti y’Ensi Yonna naye yeesowoddeyo okuvuganya. Ono amaze emyaka 11 nga tali mu Congo naye emisango baagimuggyeeko mu June w’omwaka guno.

Kabila yakwata obuyinza mu 2001 oluvannyuma lw’okutemulwa kwa kitaawe Laurent-Desire Kabila. Yategeka okulonda mu 2006 ne bamulonda n’addamu okutegeka okulonda okulala mu 2011 okwalimu akavuyo n’okutta abantu kyokka n’asigala mu ntebe.

Ekisanja bwe kyaweddeeko mu 2016, Kabila n’alemera mu ntebe n’ayagala n’okukyusa mu Ssemateeka aggyewo ebisanja ekyawaliriza Abacongo okwekalakaasa okumulemesa okusala olukujjukujju okukyusa Ssemateeka asobole okuddamu okwesimbawo.

Yagenda mu maaso n’okubafuga ng’ekisanja kye kyaggwaako dda era n’agaana n’okussaawo okulonda nga yeekwasa nti, waliwo abayeekera n’amagye g’amawanga amalala mu Congo tebasobola kutegeka kulonda.

Ku ntandika ya 2018, Klezia Katolika yakulembeddemu okwekalakaasa okw’emirembe okuwakanya Kabila okuddamu okwesimbawo n’okumusaba ave mu kwekwasa obusongasonga ategeke okulonda omwaka guno.

Bano olwafulumyenga mu Klezia buli Ssande nga bagenda ku nguudo kyokka poliisi n’amagye baabataddeko eryaanyi ne babakubamu ttiyaggaasi n’amasasi abamu ne bafa.

Kalidinali Laurent Monsengwo yalabudde ebitongole by’ebyokwerinda olw’okukozesa eryaanyi ku bantu ababanja eddembe lyabwe.

Okukuba ttiyaggaasi mu Klezia okugumbulula abali mu Mmisa n’okukwakkula bafaaza ku kituuti ne babaggalira kibadde kyabulijjo.

KABILA ALEETA OMUSIKA

Kabila olwalangiridde Shadary, abamuvuganya ne bongera okuwaga. Klezia yaweerezza obubaka nti era kale awo watuukika! Omubaka w’ekibiina ky’Amawanga Amagatte e Congo, Nikki Haley yalabudde akakiiko k’ebyokulonda okutegeka okulonda okwamazima n’obwenkanya.

Mu December 2018, Congo lwe bakuba akalulu okulonda addira Kabila mu bigere wabula wakyaliwo obweraliikirivu nti, Kabila ayinza okwongezaayo okulonda agira yeekuumira mu buyinza.

Shadary, yaliko minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga, omumyuka wa Katikkiro wa Congo era mu 2017, omukago gwa Bulaaya gwamussaako nnatti olw’okutyoboola eddembe ly’obuntu. Muwulize nnyo eri Kabila kyokka ssi muganzi mu bantu.

Bemba naye olwakomyewo eka yeesowoddeyo kuvuganya ate Vital Kamerhe y’akulira omukago gw’oludda oluvuganya era yakwata kyakusatu mu kulonda kwa 2011.

Felix Tshisekedi, akulira ekibiina ekinene ku ludda oluvuganya Gavumenti Union for Democracy and Social Progress, mutabani w’omugezni Etienne Tshisekedi naye yali mulwanirizi wa ddembe. Azze kuvuganya.

Bangi ku bannansi babadde basuubira nti Etienne Tshisekedi gwe batwala nti y’akulira oludda oluvuganya baamugaanyi okuyingira mu Congo okuva e Belgiuma gye yaddukira emyaka ebiri egiyise.

Ono yali Gavana w’essaza ly’e Katanga erisingamu ebyobugagga. eby’omu ttaka. Mugagga nnyo alina n’ennyonyi eyiye. Baamuwozesa nga taliiwo ne bamusingisa emisango mu 2016.

Ebyewuunyisa tebiggwaayo, ne Tryphon Kin-Kiey Mulumba eyali awagira Kabila okuweebwa ekisanja ekyokusatu, yataddeyo empapaula ayagala kuvuganya ku bwapulezidenti.

Obutabanguko buzze bubeerawo mu Congo bannansi ne basigala nga babundabunda n’abamu baddukira mu Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Newsengalogob 220x290

Lwaki toyagala kwegatta?

Ate okomawo ng‛obudde bugenze, kati yeebuuza obaomulimu gw‛okola gwe guleese embeera eno. Kati alowooza edduuka...

Newsengalogob 220x290

Nvaamu ekisu

LWAKI nvaamu ekisu nga neegasse n’omusajja?

Newsengalogob 220x290

Namukwatira mu bwenzi

MUKYALA wange namukwata lubona n’omusajja naye namusonyiwa.

Newsengalogob 220x290

Takyantuusa ku ntikko

omwami wange takyantuusa ku ntikko

Kamenke1 220x290

Abadde yaakayimbulwa bazzeemu okumukwatira...

Kiwanuka abadde yaakayimbulwa mu kkomera e Luzira gye yasindikibwa ku kibonerezo eky’emyaka etaano oluvannyuma...