TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Omuvubuka abbye ennyonyi ku kisaawe n'agibuusa n'agitomeza n'afiiramu

Omuvubuka abbye ennyonyi ku kisaawe n'agibuusa n'agitomeza n'afiiramu

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2018

EGGYE lya America ery’omu bbanga liwaliriziddwa okusitula ennyonyi ennwanyi ez’ekika kya F- 15 okugoba omukozi w’oku kisaawe eyapakudde ennyonyi n’agibuusa okukkakkana ng’agisudde mu nnyanja.

Alaska 703x422

Ennyonyi eno yaggyiddwa ku kisaawe ky’e Seattle, ekiyitibwa Tacoma. Ab’obuyinza mu America baategeezezza nti ekyayambye nti ennyonyi eno eyeetikka abantu 76, mu kiseera omuvubuka ono we gipakulidde yabadde teriimu muntu ng’esimbiddwa awo mu kisaawe.

Kyategeezeddwa nti omuvubuka ono makanika era ng’aweza emyaka 29. Bwe yakitegedde nti amagye gamugoba, n’atomeza ennyonyi eno n’etuntumuka omuliro n’eggwaawo era naye n’afiiramu.

Okusinziira ku maloboozi agaakwatiddwa ku katambi k’ennyonyi eno, omuvubuka yawuliddwa ng’ayogera nti yabadde si mwetegefu kuzza nnyonyi eno ku kisaawe we yagiggye era waayise ekiseera kitono n’agitomeza.

Akavuyo kano kaagootaanyizza entambula z’ennyonyi ku kisaawe kino okumala akaseera kuba abasaabaze tebasoose kumanya kibaddewo okuggyako okulaba ng’ennyonyi ennwanyi zeetala mu bbanga.

Mu kusooka kyalowoozeddwa nti, wandiba nga waliwo omutujju eyawambye ennyonyi eno kyokka oluvannyuma n’ekitegeerwa nti, mukozi wa ku kisaawe ekyo.

Abatuuze abaliraanye ekisaawe baategeezezza nti baalabye ennyobyi eno nga yeebonga mu bbanga kyokka nga n’ennyonyi z’amagye bwe zigitaayiza okulemesa omuvubuka ono okusuula ennyonyi eno mu bantu.

Eddakiika omuvubuka ono ze yamaze ng’ayogeraganya n’ab’oku kisaawe yabategeezezza nti, teyabadde mwetegefu kwewaayo mu mikono gy’aboobuyinza kuba akimanyi nti, ekikolwa kye kyabadde kya kumusibisa obulamu bwe bwonna ate nga takyetegekedde takyetegekedde.

Akulira poliisi mu ktundu kino, Paul Pastor yayogedde ku kikolwa kino n’agamba nti tekyabaddemu kigendererwa kya bwannalukalala kyonna wabula omubuvuka yabuguumiridde bubuguumirizi n’ayagala okubuusa ku nnyonyi kyokka nga tegyekakasa bulungi kugivuga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...