TOP
  • Home
  • Agawano
  • Ssekandi agumizza abatwala abantu ku kyeyo

Ssekandi agumizza abatwala abantu ku kyeyo

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2018

OMUMYUKA wa Pulezidenti w’eggwanga, Edward Kiwanuka Ssekandi agumizza bannannyini kkampuni ezitwala abantu mu mawanga g’ebweru okukuba ekyeyo nti gavumenti yaakugenda mu maaso n’okubawagira ssinga omulimu gwabwe bagukola mu bwesimbu, okusobola okukendeeza ku bbula ly’emirimu naddala mu bavubuka.

Tambula 703x422

Tuuka mirembe gy’olaga: Ssekandi bw’alabika okugamba ng’asabira omu ku bavubuka abagenda ku kyeyo, bwe yabadde abasiibula.

Bino yabyogeredde Muyenga mu ggombolola y’e Makindye ku kitebe kya kkampuni ya Middle East Consultants etwala abantu mu mawanga ag’enjawulo ku mirimu egitali gimu.

Abavubuka 99 be baatwaliddwa mu Qatar, okukola emirimu okuli ogw’obukuumi, okuzimba, okuvuga mmotoka n’emirala.‘’

Bulijjo mpulira abatwala abantu mu mawanga ag’enjawulo okukola emirimu nga nkiyita kiwaani, era n’ekiro waliwo eyankubidde essimu n’angamba nti mpulidde ogenda ku Middle East kusiibula bantu, naye eyo kkampuni y’abafere, wabula kye nsanze wano ssi kye mbadde nsuubira era nkakasizza nti ddala omulimu gwe mukola mulungi,” Ssekandi bwe yategeezezza ng’anyumyamu ne dayirekita wa kkampuni eno Gordon Mugyenyi.

Yabuuliridde abavubuka bano obutadda mu kwejalabya wabula bakole nga batereka okwekulakulanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera