TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abasamize abaasaddaase omuwala balaze Poliisi entaana mwe baaziika abalala 4

Abasamize abaasaddaase omuwala balaze Poliisi entaana mwe baaziika abalala 4

By Stuart Yiga

Added 12th August 2018

Poliisi e Naggalama mu disitulikiti y’e Mukono ekutte abasamize bana abateeberezebwa okusaddaaka omuwala ayitibwa Zulaika Mirembe, n’abantu abalala bana!

Emiramboegyazuuliddwangagizingiddwamubiveera 703x422

Abasamize nga balaga Poliisi emirambo gy'abantu abalala be batta ne babaziika mu ntaano mu ssabo

Poliisi e Naggalama mu disitulikiti y’e Mukono ekutte abasamize bana abateeberezebwa okusaddaaka omuwala ayitibwa Zulaika Mirembe, n’abantu abalala bana!

Aduumira Poliisi e Naggalama, Jesca Naawe, yategeezezza Bukedde nti, abooluganda lwa Mirembe beekubira enduulu ng’omuntu waabwe abuze era ne batandika okunoonya waali.

Naawe ayongerako nti, oluvannyuma waliwo eyabaleeetedde amawulire n’abategeeza nti omuntu gwe banoonya yamulabyeko ew’omusamize ayitibwa Owen Sebuyungo, 24, era ne bagendayo n’abakakasa nti, ewuwe yali agenzeeyo ng’atawaanyizibwa empewo.

Sebuyungo yakwatiddwa ne Junior Kibuuka, Fred Kiiza Semanda, ne Muhammed Wamala oluusi eyeeyita ‘Bob’ era nga bonna bakuumirwa ku Poliisi e Naggalama.

Oluvannyuma lw’okukunyizibwa bambega ba Poliisi, bonna abana bakkirizza nti kituufu baasazeeko omuwala omutwe era oluvannyuma ne baguziika mu ssabo lyabwe erisangibwa e Ntunda-Kayunga.

 zimu ku ntaana omwasimiddwa emirambo mu ssabo Ezimu ku ntaana omwasimiddwa emirambo mu ssabo

Poliisi era ezudde amafumu saako ensuwa omubadde omusaayi ogwalembekeddwa okuva mu mugenzi.

Poliisi era enoonyereza ku bigambibwa nti waliwo abawala abalala basatu omusamize Wamala be yajja mu bitundu by’e Nansana-Ganda n’abatta oluvannyuma n’abaziika mu ssabo ng’anoonya obugagga.

Ye Sebuyungo yategeezezza Poliisi nti okusaddaaka kwonna kw’abadde akola abadde asooka kwebuuza ku mpewo ze n’ekigendererwa eky’okwagala okufuna obugagga.

"Emirambo gye tuzudde tugitutte mu kkeberezo lya gavumenti okuzuula abooluganda era nga tukyanoonyereza okuzuula oba waliwo abantu abalala abattibwa ne baziikibwa mu masabo amalala 5," Bw’atyo ASP Naawe bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup