OMUKAZI yeefudde agenze okulya emmere mu wooteeri n’abasuulira omwana ow’emyezi esatu n’abulawo.
Omuwala eyategeerekeseeko erya Praise yayingidde wooteeri n'omwana we ow'emyezi esatu nga kasitona n'afundikira ng'amusuulidde abakolera mu wooteeri ya Fatuma Navuga Muwanga esangibwa mu Kibe zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe.
Navuga ategeezezza nti nti Praise tamumaanyi era yamwanirizza nga kasitoma ng’amanyi azze kulya mmere kyokka nayo tayagiridde n'anyeenya mu ttanka.
Agasseeko nti obwedda anyumya ng’era omwana bawulidde amuyita Nathan.
Okumusuula yamulekeddewo obugoye mu kasawo ke baatankudde ne bagwa ne ku bufaananyi bwa Praise eyasudde omwana.
Navuga yagguddewo omusango ku poliisi y’oku Kaleerwe ku fayiro nnamba SD REF:15/13/08/2018