TOP
  • Home
  • Agawano
  • Abasibe 2 ababadde bamenya akaduukulu batoloke bannaabwe babalonkoomyeyo ne bakwatibwa

Abasibe 2 ababadde bamenya akaduukulu batoloke bannaabwe babalonkoomyeyo ne bakwatibwa

By Moses Lemisa

Added 14th August 2018

"AFANDE sitaani yatukemye naye yadde mutusanze tusima akaduukulu tubadde tetugenda kutoloka, " bwe bwatyo abasibe babiri abaabadde bagezaako okutoloka bwe beewozezzaako nga Poliisi ebagombyemu obwala.

Pata1 703x422

Tumwesigye mu kikaketi ne Nsubuga nga batunula binsobedde oluvannyuma lw'olukwe lwe baaluse okusima akaduukulu batoloke okugwa obutaka. EKIF: MOSES LEMISA

"AFANDE sitaani yatukemye  naye yadde mutusanze tusima akaduukulu tubadde tetugenda kutoloka, " bwe bwatyo abasibe babiri abaabadde bagezaako okutoloka bwe beewozezzaako nga Poliisi ebagombyemu obwala.

Mike Tumwesigye 22 ow'e  Nateete  omuyimbi w’ennyimba za Hiphop  yakwatiddwa ku musango gw’okubba obukadde bubiri n’essimu ku Fatuma Namakula ne bamuggalira mu kaduukulu gye yasanze Herbert Nsubuga ow'e Makerere - Kikoni gwe baggalidde olw'obwakirereese beekobaanye bombiriri ne basima akaddukulu k’oku poliisi y’oku Kaleerwe batoloke.

Mu kaduukulu mwabaddemu abasibe abalala abasoba 10 abeekanze okulaba Tumwesigye ne Nsubuga nga basima ekituli mu kaduukulu ne babasaba babeyungeko bafulume bonna kyokka ne bakiwakanya ekyaddiridde kubaloopayo mu basirikale olwo Tumwesigye ne Nsubuga ne gabamyuka ne bategeeza nti tekyabadde kirowoozzo kyabwe kutoloka  wabula sitaani ye yabakemye .

“Kituufu tusimye ekituli naye tubadde tetugenda kutoloka sitaani yatukemye ate nabo abatulonkomye nabo singa tutolose banditugoberedde," Tumwesigye ne Nsubuga bwe beewozezzaako.

Bano bagguddwaako omusango gw’okumenya akaduukulu ku fayiro nnamba SD REF: 14/09/08/2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

131736705311775037218421032422864993791094n 220x290

Omusajja gwe baakwatidde ewa Kirumira...

Francis Mayengo omusuubuzi wa sipeeya e Lubowa ku lw’e Ntebe okumpi ne Roofings yakwatiddwa bambega ba poliisi...

Unai 220x290

Emery asonze ku muzannyi gw'agenda...

Banega, muwuwuttanyi era Arsenal yeetaagayo omuzannyi anaaggumiza amakkati.

Supremenew 220x290

Ndirangwa asabye poliisi esookenga...

Ndirangwa agambye nti singa poliisi ekwata omuntu ng’emaze okumunoonyerezaako obulungi ku musango gwe babeera...

Ntebe18 220x290

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine...

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine okuva ku kisaawe e Ntebe okutuuka e Magere mu makaage

Mick 220x290

Mutabani wa Michael Schumacher...

Mick mu kiseera kino avugira mu Formula Three nga yaakawangula empaka za mirundi 6 ku 10