TOP
  • Home
  • Agawano
  • Tawuni kiraaka w'e Wakiso eyali yeeremeza mu ofiisi kyaddaaki akyusiddwa

Tawuni kiraaka w'e Wakiso eyali yeeremeza mu ofiisi kyaddaaki akyusiddwa

By Rogers Kibirige

Added 14th August 2018

Tawuni kiraaka w'e Wakiso eyali yeeremeza mu ofiisi kyaddaaki akyusiddwa

Ssempebwa4 703x422

Ssempeebwa eyakyusiddwa

AKULIRA abakozi ba Gavumenti mu disitulikiti y’e Wakiso Luke Lokuda amaze n’akyusa Town Clerk w’e Wakiso, Cox Ssempebwa Nsubuga abadde yeeremeza mu ofiisi ng’akozesa ekiragiro kya kkooti.           

Ssempebwa yajjiddwa ku Town Council y’e Wakiso n’atwalibwa ku Kasanje Town council okukola nga Town Clerk ate Livingstone Kasibante eyali yakoma ku munaabo omwaka oguwedde nazzibwa e Wakiso.           

Nga July 26, 2017 Kasibante yakwasibwa ofiisi y’obwa Town Clerk wa Wakiso Town council kyokka Ssempebwa n’atamuganya kugiyingira bwe yagiremeramu nga yeyambisa ekiragiro kya kkooti.           

Kinajjukirwa nti nga July 26, 2017 Lokuda yatwala abaserikale ba poliisi ku kitebe kya Town council y’e Wakiso n’akasuka Ssempebwa wabweru oluvannyuma lw’okugaana okuwaayo ofiisi mu mirembe asobole okunoonyerezebwako. 

........................................................................................................................EBIRALA...

Town Clerk w’e Wakiso olumugobye abakozi ne bamwabiza 'olumbe'

Town Clerk wa Wakiso abakozi gwe baakoledde akabaga okwekulisa azziddwa ku mulimu

.............................................................................................................................

Ssempebwa yali avunaanibwa emisango okuli ogw’okukozeza obubi ofiisi y’obwa Town Clerk, okufiiriza Gavumenti ensimbi z’omusolo bwe yadobonkanya paaka y’e Wakiso n’agisengula okugigya ku ttaka lya Suzan Nakibinge ng’agezaako okwewala okusasula ebbanja Nakibinge lye yali abanja Town council. 

 own lerk wa akiso own ouncil omupya ivingstone asibante eyali yakoma ku munaabo omwaka oguwedde Town Clerk wa Wakiso Town Council omupya Livingstone Kasibante eyali yakoma ku munaabo omwaka oguwedde.

Ebirala ebyali bimuvunaanibwa kwaliko okwetuminkirioza n’awa Racheal Nabukalu omulimu gw’okukola ku mmeeza awatuukirwa abagenyi kyokka nga ekifo kino ku Town council tekirina kubaawo, Nabuyondo omulimu gwokukola guno naguli mu ofiisiye ate Shamim Nabanoba n’amuwa okuba omuwandiisiwe kyokka ng’akimanyidde ddala nti kye yakola buvunaanyizibwa bw’akakiiko ka disitulikiti akagaba emirimu.

 Oluvannyuma Ssempebwa yadda mu ofiisi oluvannyuma lw’okuleeta ekiragiro okuva mu kkooti enkulu ekyafulumizibwa nga July 26, 2017 nga kimulemeza mu ofiisi okutuusa ng’okwemulugunya kwe yali atutte mu kkooti kumaze okuwulirwa, mu kwemulugunyakwe yali awakanya ekyamukamaawe Lokuda okumuyimiriza ku mulimu n’okumulagira okuwaayo ofiisi mu lunaku lumu nga tamaze kweteekateeka n’okuweebwa omukisa okwewozaako. 

Enkyukakyuka zino we zijjidde nga Ssempebwa ali mu kugugulana ne Bakansala ku Town Couincil y’e Wakiso n’abamu ku bakozi banne ate nga n’akakiiko Lokuda ke yateekawo okumunoonyerezaako nga kamaze okufulumya lipooti eraga engeri gyabadde agootanyizzaamu enzirukanya y’emirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...