TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatuuze bavudde mu mbeera ne basaanyaawo amaka g'omutuuza agambibwa okubeera omusamize

Abatuuze bavudde mu mbeera ne basaanyaawo amaka g'omutuuza agambibwa okubeera omusamize

By Saul Wokulira

Added 14th August 2018

Abatuuze bavudde mu mbeera ne basaanyaawo amaka g'omutuuza agambibwa okubeera omusamize

Sab1 703x422

ABATUUZE batebuse poliisi ebadde ekuuma amaka g'omusamize Owen Ssebuyungo ne bagasanyawo n'ebirime bye ne babisaawa.

Emwanyi, ebitooke, amapapaali n'ebirime bye byonna abatuuze babisaanyizzaawo.Enyumba olugisudde ku ttaka banyaze ebintu byonna ebibaddemu n'amabaati ne bagabambulako ne bayita agula sikulaapu ne bagafunamu ez'amangu.

 

Abatuuze baagala poliisi eddemu esime mu kibanja kya Ssebuyungo kubanga bateebereza nti wandibaawo abantu abalala beyatta n'aziika.

Omu ku batuuze Allan Ssentongo abadde mu kusaawa ebirime bya Ssebuyungo n'okumenya enyumba agambye nti busungu bwe bubakozesezza bino kubanga baabadde baagala Ssebuyungo bamumize omusu wabula poliisi yabalemesa kati ekiruyi kwe kukimalira ku bintu bye.

Awabadde amasabo ga Ssebuyungo wafuuse matongo n'agabadde amasabo nago muyonga.

Omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti y’e Kayunga George Obia yavumiridde ekikolwa eky’okukoona enyumba n’okusaawa ebirime n’asaba abatuuze basigale nga bakkakamu balinde amateeka galamule.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...