TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Eyabbye mmotoka ya muganda wa Bobi Wine bamukutte agitunda e Mutundwe

Eyabbye mmotoka ya muganda wa Bobi Wine bamukutte agitunda e Mutundwe

By Eria Luyimbazi

Added 14th August 2018

POLIISI ekutte omusajja eyabbye emmotoka ya muganda w’omubaka, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine e Kamwokya n’agezaako okubaako baagiguza.

Bugembe2 703x422

Bugembe ng’aliko by’abuulira OC wa poliisi ya Kira Road, Ahweera oluvanyuma lw’okuzuula mmotoka ye eyabadde ebbiddwa. Mu katono ye Mulindwa.

Wamala Mulindwa 25, omutuuze w’e Mutundwe mu Kweeba zooni ye yakwatiddwa poliisi ya Kira Road oluvannyuma lw’okubba mmotoka ya Ivan Bugembe gye yasanze mu paakingi e Kamwokya ku Lwomukaaga.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti okukwata Mulindwa kyaddiridde abantu be yabadde agezaako okuguza mmotoka eno nnamba UAU 272W e Mutundwe okutemya Weidong ng’alambuza baminisita Kasaija ne Muloni ekkolero eppya. ku poliisi bwe baakizudde nti yabadde talina biwandiiko bigyogerako.

“Twatemezeddwaako abantu nga bwe waliwo omuvubuka eyabadde agezaako okubaguza mmotoka wabula nga talina biwandiiko byayo era abaserikale baagenzeeyo ne bamukwata n’emmotoka era ne bakizuula nti yabadde enoonyezebwa oluvannyuma lwa nnyiniyo okuloopa ku poliisi,” Owoyesigyire bwe yategeezezza.

Yagambye nti oluvannyuma lw’okukwata Mulindwa yabuulidde poliisi ng’emmotoka eno bwe yagibba ku Lwomukaaga era ng’abaguzi be yagitwalidde yabadde agibaguza ku bukadde musanvu nga wano abaserikale we baamukwatidde.

Yategezezza nti Bugembe yabuulidde poliisi nti mmotoka ye yabbibwa ku ssaawa 11:00 nga bukya mu kiro ekyakeesa ku Lwomukaaga mu paakingi e Kamwokya oluvannyuma lw’okugendayo naasanga nga teriiwo kyokka nga Mulindwa eyagibba yali yamusembeza okubeera naye.

Mulindwa akuumirwa ku poliisi ya Kira Road nga yagguddwaako omusango ku fayiro SD 38/11/08/2018 ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi