BUKEDDE W’OLWOKUSATU AKULEETEDDE EBIKULU BINO
Tukulaze ekyabadde mu Arua n’akasattiro akaabadde mu famire z’ababaka abaakwatiddwa.
Tugasseeko ebizibu Bobi Wine by’azze asanga bukya ayingira byabufuzi. Kwossa engeri omulambo gwa musajja we eyattiddwa bwe gulemedde mu Arua.
Mulimu muganda wa Ivan Ssemwanga naye afudde mu ngeri eyeewuunyisa. Tukulaze enfa ye bw’efaananye eya Ivan Ssemwanga.
Ensonga z’abaakwatiddwa n’emirambo ziranze nga zituuse n’e Luweero gye bagwiridde ku kibondo ekirala. Byonna mu Bukedde w’Olwokusatu.
Mu Byemizannyo:Tukukubidde ttooki mu ttiimu ya Real Madrid eggulawo sizoni leero ku Lwokusatu nga terina Cristiano Ronaldo eyagenda mu Juventus.