TOP
  • Home
  • Agawano
  • Abasajja mutuukirizie obuvunaanyizibwa bwammwe mu maka - Minisita Sekabembe

Abasajja mutuukirizie obuvunaanyizibwa bwammwe mu maka - Minisita Sekabembe

By Musasi wa Bukedde

Added 15th August 2018

MINISITA ow’emizannyo, abavubuka n’okwewummuza, Henry Ssekabembe Kiberu asomoozezza Abaganda okukomyaawo ekitiibwa ky’amaka kubanga ge gakola eggwanga ng’awatali kino Uganda eri mu katyabaga.

Naffe 703x422

Minisita Ssekabembe (owookubiri ku ddyo) ng’akwasa ab’eggombolola ya Mutuba XII Kkingo abaakulembeddwaamu Omwami w’eggombolola, Elizabeth Nalwanga ne banne, ekifaananyi kya Kabaka ne kuleeti y’omwenge gwa Ngule. Ku ddyo ye Harris Lubega.

Bino yabyogeredde Bulange - Mmengo ku Lwokubiri eri abantu okuva mu ggombolola ez’enjawulo mu ssaza ly’e Buddu mu Disitulikiti y’e Lwengo n’asaba abasajja okufaayo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka baleme kubulekera bakyala bokka.

“Singa tunaanyweza amaka ne gabaamu obuwangwa n’ennono, ebirala byonna bijja kugonda.

Minisita Ssekabembe era yakunze abantu Mmengo okuteeka essira ku kuweerera abaana n’okukola obutaweera okusobola okugoba obwavu n’abasaba n’okujja mu bungi e Kibibi - Butambala nga August 25,2018 nga Kabaka aggalawo empaka z’omupiira gw’ebika by’Abaganda wakati w’Enkima n’Empindi.

Mutuba XII Kkingo nga baakulembeddwamu Elizabeth Nalwanga Muwanga baleese 3,530,000/-,Mutuba VII Lwengo;- 1,740,000/-, Mutuba XIV Malongo;- 575,000/-, Mutuba XIII Kisekka;- 2,500,000/- ne Mutuba I Buwunga;-1,550,500/- nga zonna wamu zaasusse obukadde 10.

Ate Omubaka omukazi owa Lwengo mu Palamenti, Cissy Namujju yawaddeyo 900,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Koma 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO AFULUMYE...

Tukulaze engeri gye baakutte Bobi Wine e Ntebe okumuleeta e Kampala. Eby’afande Kirumira poliisi ebiyingizzaamu...

4218619822279454041062156863652704476987392n 220x290

Abantu beeyiye mu maka ga Bobi...

ABANTU beeyiye mu maka ga Bobi Wine e Magere okumwaniriza.

Kirumiramuhammad 220x290

Amagye gakutte owa Flying Squad...

AMAGYE gakutte omuserikale wa Flying Squad agambibwa okuba mu by’okutemula Afande Muhammad Kirumira.

131736705311775037218421032422864993791094n 220x290

Omusajja gwe baakwatidde ewa Kirumira...

Francis Mayengo omusuubuzi wa sipeeya e Lubowa ku lw’e Ntebe okumpi ne Roofings yakwatiddwa bambega ba poliisi...

Unai 220x290

Emery asonze ku muzannyi gw'agenda...

Banega, muwuwuttanyi era Arsenal yeetaagayo omuzannyi anaaggumiza amakkati.