TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnansi agenze ku ndagu okutereeza amaka ne bamubba

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza amaka ne bamubba

By Musasi wa Bukedde

Added 15th August 2018

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza amaka ne bamubba

Hip1 703x422

OMUSAWO w’ekinnansi alimbyerimbye nnansi n’amubbako ssente 3,000,000/- ng’amusuubizza okumukolera ku bizibu ebitawaanya famire yaabwe. Paul Luzzi 30 ow’e Migadde mu Wakiso musawo wa kinnansi.

Yaggaliddwa oluvannyuma lwa Emelda Nakitto 39 omusawo w’e Nkoowe okumulumiriza okumufera n’amuggyako 3,100,000/-

ng’amukakasizza okumukolera ku bizibu ebitawaanya famire yaabwe kyokka n’afundikira ng’omulimu tagukoze mu bulambulukufu, ensonga n’azitwala ku poliisi y’e Wakiso era guli ku fayiro nnamba SD:40/05/08/2018.

Luzzi yakwatiddwa poliisi y’oku Kaleerwe era yasangiddwa ne kaadi eziriko obufaananyi bwe kyokka ng’amannya ga njawulo.

Luzzi omusango yagukkirizza n’asaba bamukkirize atunde poloti ye oba mmotoka ye ekika kya Corona UAF 925Z asasule Nakitto.

NAKITTO BY’AGAMBA “Tuludde nga tulina ebizibu mu famire yaffe era mu kusooka nali ndowooza ndi, mulwadde.

Bwe bankebera omusaayi gwalaga nti, ndi mulamu katebule. Nnina mukwano gwange ali mu Oman n’andagirira ewa Luzzi.

Namusisinkana mu May omwaka guno. Nga ntuuse mu ssabo lya Luzzi yankebera n’ahhamba nti ewaffe tulina ekitambo ekitumalako emirembe era nti ensonga agenda kuzikolako.

Yantuma akabwa akato n’ekinyira kyokka nga sirina gye hhenda kubiggya. Yahhamba nti ajja kubifuna singa mmuwa ssente 3,100,000/.

Mu June yajja ng’ali n’omu ku baganda be n’omuntu omulala gwe yahhamba nti naye alina ebizibu. Yabuuza maama wange nti ebigenda okukwatibwa anaabikkiriza maama n’akkiriza.

Alina ebintu bye yaziika emmanju nze enkeera ne mbiziikula. Ebintu bye yaziika nti byokoola nasangawo bipapula ebyakozesebwa okwewandiisizaako okufuna densite ne hhenderawo ku poliisi ne mmuggulako omusango ampe ssente zange.”

LUZZI ANNYONNYODDE

“Kituufu ndi musawo wakinnansi era empapula ezinzikiriza okusawula nzirina. Kitange Joseph Kabuye eyafa mu 2000 ye yantendeka. Omukazi oyo byonna by’ayogedde bituufu nsaba ensonga zireme kweyongerayo”, Luzze bwe yasabye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...