TOP
  • Home
  • Agookya
  • Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola n'amakerenda g'eyise enjaga ewa Bobi Wine:'Twabisanze mu wooteri mw'abadde asula'

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola n'amakerenda g'eyise enjaga ewa Bobi Wine:'Twabisanze mu wooteri mw'abadde asula'

By Musasi wa Bukedde

Added 15th August 2018

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola n'amakerenda g'eyise enjaga ewa Bobi Wine:'Twabisanze mu wooteri mw'abadde asula'

39248881101567630827890782826876916504461312n 703x422

POLIISI mu kibuga Arua eraze emmundu bbiri ez’ekika kya SMG ne basitoola  ezigambibwa nti zaggyiddwa ku mubaka Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine ne munne gwe yabadde akubira kampeyini nga yeesimbyewo mu kitundu kino Kasiano Wadri.

Poliisi egamba nti emmundu emu yabaddemu amasasi 16 n’endala ng’erimu 19 zaggyiddwa mu kasenge Bobi Wine ne Wadri mwe baabadde bagenda okusula  mu woteeri emanyiddwa nga ‘Pacific’ mu kibuga Arua.

Poliisi yagambye nti mu kasenge kano baasanzeewo n’amakerenda 46 agalabika okuba enjaga.

 

Omugatte amasasi 75 ge gaakwatiddwa mu bikwekweto ebyakoleddwa ab’ebyokulonda mu buvuyo obwabadde mu Arua omwafiiridde ne ddereeva wa Bobi Wine.

Ebirala ebyazuuliddwa kuliko; bbendera za Uganda ssatu, T- Shirt emmyuufu ssatu, nga ziriko ebigambo ‘’guno omusolo gugende’, essimu za 'smart phone' kkumi, obukooti obumyufu  n’ensawo emmyuufu.

 alt=''

Omwogezi wa poliisi mu bugwanjuba bw’obukiikakkono bwa Uganda (North Western) Josephine Angucia yagambye nti abaakwatiddwa bonna bali mu mikono gya poliisi.

Yagambye nti abantu 35 be baakwatiddwa mu bikwekweto bino era bonna bali mu mikono gya poliisi ssi magye.

Bobi Wine ne Kasiano Wadri bagguddwaako emisango gy’okulya mu nsi olukwe, okuba n’emmundu  n’okukunga abantu okukola effujjo.

Kyokka poliisi yagambye nti ekyabuuiriza ku basitoola gye yasanze ne Kasiano Wadri eyagambye nti agirinako olukusa.

Angucia yategeezezza nti poliisi egenda kunoonyereza ku mmundu ezigambibwa nti zaasangiddwa ne Bobi Wine.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...