TOP

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti y'Amagye

By Stuart Yiga

Added 15th August 2018

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti y'Amagye

Bo1 703x422

OMUBAKA akiikirira abantu ba Kyadondo East mu Palamenti, Robert Kyagulanyi Sentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, aguddwaako emisango gy’okugezaako okulya mu nsi ye olukwe (treason) nga kino kiddiridde okumusanga n’emmendu  mu woteeri eyitibwa  Pafic, esangibwa mu municipaali y’e Gulu.

Ekyama kino kibotoddwa amyuka ssaabaminisita asooka Maj. Gen. Moses Ali, bwe bw'abadde annyonnyola ababaka ba Palamenti ababadde bamutadde ku nninga okumanya embeera y’ababaka bannaabwe  mwebali.

Ababaka abalala abaakwatiddwa kuliko omubaka wa Jinja East-Paul Mwiru, eyaliko omubaka wa Makindye East- Michael Mabikke, omubaka wa Municipaali y’e Mityana Zaake Butebi, n’eyaliko omubaka wa Terego, era ng’abadde omu ku besimbyeewo ku kifo ky’okujjuza omubaka wa Gulu, Kasiano Wadri.

Kigambibwa nti emmundu eyogerwako yasangiddwa mu kifo omubaka Kyagulanyi mw’abadde asula e Gulu.

Okusinziira ku Gen. Moses Ali, Kyagulanyi  yatwaliddwa mu ddwaliro ly’amagye e Gulu n’ajjanjabibwa oluvannyuma gy’asuubirwa okuggibwa atwalibwe mu kkooti y’amagye esangibwa mu kitundu ky’ekimu ku Lwokuna , avunaanibwe emisango gy’okusangibwa n’emmundu mu bumenyi bw’amateeka saako okulya mu nsi ye olukwe.

Gen. Moses Ali era ategeezezza nti  abantu abalala abaakwatiddwa bagenda kutwalibwa mu kkooti z'abulijjo bavunaanibwe okwonoona mmotoka ya Pulezidenti Museveni wamu n’okukuma mu bantu omuliro.

Newankubadde Moses Ali ategezezza nti abaakwatiddwa tewali yatulugunyiziddwa, kigambibwa nti ku bantu 33, abasinga ku bo, bapooca na biwundu oluvannyuma lw’okukubibwa ab’ebyokwerinda bwe baabadde e Gulu ku Lwokubiri

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kit1 220x290

Batutte omulambo ku disitulikiti...

Batutte omulambo ku disitulikiti lwa kubamma bbaluwa

Kit1 220x290

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka...

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka akwasizza abazadde

Tr1 220x290

Poliisi ekunyizza abaatomedde owattulafiki...

Poliisi ekunyizza abaatomedde owattulafiki

Lip1 220x290

Beekalakaasizza ku bya poliisi...

Beekalakaasizza ku bya poliisi okutta Omuddugavu

Kat1 220x290

Embeera ya Kasirye Ggwange eyongedde...

Embeera ya Kasirye Ggwange eyongedde okubijja