TOP

Eby'omusango gwa Kaweesi bijulidde

By Edward Luyimbazi

Added 16th August 2018

EBYOKUGOBA omusango oguvunaanibwa abaakwatibwa ku kutemula eyali omwogezi wa Poliisi Andrew Felix Kaweesi bikyaganyi oluvannyuma lwa fayiro y’omusango guno okulemera mu kkooti Enkulu e Kololo okuva ku kkooti e Nakawa gye gwawaabwa.

Aaa 703x422

Abavunaanibwa okutta Kaweesi nga bali mu kkooti.

Kino kiddiridde omulamuzi Noah Ssajjabbi, ali mu mitambo gy’omusango guno ku kkooti e Nakawa okutegeeza nga bwatasobola kugugoba nga balooya b’abantu bano okuli Anthony Wameli ne Geofrey Turyamusiima bwe baali basabye kubanga fayiro y’omusango guno yatwalibwa mu kkooti enkulu ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna e Kololo.

Yategeezezza nti fayiro eno yali yaggyibwa ku kkooti e Nakawa n’etwalibwa mu kkooti enkulu e Kololo nga waliwo omu ku basibe abali ku musango guno eyatwalayo okusaba kwe nga ayagala ayimbulwe ku kakalu ka kkooti era okuva lwe yatwalibwa mu mwezi gwa June ,2018 tennakomezebwawo.

Ssajjabbi yagambye nti tasobola kuwa nsala ye ku musango, guno nga fayiro yaagwo teriiwo nategeeza kkooti nga bw’ajja okuwa ensala ye nga November 1,2018 singa fayiro eba ekomezeddwaawo.

Wabula ng’omulamuzi Ssajjabbi tannaba kwongerayo musango guno omuwaabi wa gavumenti, Anne Ntimba yategeezezza kkooti nga bwe batannaba kumaliriza kunoonyereza ku musango n’asabagwongezebweyo.

Wameli yagambye nti agenda kuwandiikira kkooti enkulu e Kololo alabe nga fayiro eno eddizibwa ku kkooti e Nakawa ewali omusango guno.

Abavunaanibwa nga bayimbulwa ku kakalu ka kkooti kuliko; Ahmad Shaban Senfuka , Abdurah Kalla, Umar Maganda, Sinaani Hibwagi , Ali Mugoya, Abubaker Ntende, Osman Mohammed, Ibrahim Kissa, Abdul Majid Ojegere, Hassan Tumusiime, Saudah Ayub, Asuman Mugoya, Hamidu Magambo, Yusuf Ahmed ne Swalley Ddamulira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zina 220x290

Rev. Ssempangi waakuddamu okuggya...

Rev. Dr. Keefa Ssempangi eyalabiriranga abaana b’oku nguudo, ng’ayambibwako abamu ku baana be yayamba, ali mu nteekateeka...

Tulu 220x290

Mwegendereze siriimu akyaliwo -Minisita...

MINISITA w’obulimi, obulunzi n’obuvubi Vincent Ssempijja ajjukizza abavubuka nti siriimu akyaliwo akyegiriisa n’abasaba...

Pala 220x290

‘Kirungi okuyamba abali mu bwetaavu’...

BANNADDIINI okuva mu kigo kya Blessed Sacrament Kimaanya mu ssaza ly’e Masaka badduukiridde abakadde abatalina...

Batya1 220x290

‘Mufe ku mitima so si nnyambala’...

ABAKRISTU b’e Lukaya mu disitulikiti y’e Kalunguku Lwomukaaga baasuze mu Klezia nga batenderezza Katonda mu Mmisa...

Papa 220x290

Obukadde 600 nakozesaako 70 endala...

Town Clerk w’Eggombolola y’e Gombe, Sulaiman Kassim asobeddwa mu lukiiko RDC w’e Wakiso, Nnaalongo Rose Kirabira...