TOP

Famire erumirizza abaserikale okupanga obujulizi

By Musasi wa Bukedde

Added 16th August 2018

FAMIRE ya Bobi Wine erumirizza poliisi nti eri mu kkobaane okupanga ebizibiti by’emmundu n’ekigendererwa eky’okussa emisango gy’okulya mu nsi olukwe ku muntu waabwe.

Nsale 703x422

Barbie (ku ddyo) muka Bobi Wine ng’ayogera eri abaamawulire eggulo. Ku kkono ye Eddie Yawe ate wakati ye Fred Nyanzi baganda ba Bobi Wine.

Baagambye nti beewuunyizza okulaba poliisi ng’eyanjula ebizibiti okuli emmundu ebbiri ez’ekika kya SMG, poliisi z’egamba nti yazikwatidde mu kisenge kya Bobi Wine ku Pacifi c Hotel mu kibuga Arua.

Eddie Yawe mukulu wa Bobi Wine yagambye nti, kino poliisi yakikoze okupanga omusango gw’okulya mu nsi olukwe ku mubaka Robert Kyagulanyi.

Yawe yagambye nti: Bobi Wine takwatanga ku mmundu, tamanyi na bwe bagikuba era okumusibako emmundu ebbiri, bujulizi bwa nkukunala nti Gavumenti eyagala kumusibako musango omunene oguyinza n’okumutwaza mu kkomera okumala ebbanga eriwerako.

Baagambye nti ebizibiti ebyogerwako byalagiddwa bannamawulire nga wayise ennaku bbiri bukya akwatibwa era baabadde n’obudde bwonna okutegeka ebizibiti byabwe.

Yabuuzizza nti: wooteeri agatali maka ga muntu, oyinza kumatiza otya omuntu nti ebizibiti by’oleese ku Lwokusatu (eggulo) bya kasitoma eyali mu wooteeri ku Mmande? Yawagiddwa Barbie eyagambye nti ebyo bipange tebayinza kubikkiriza.

Aba famire baasoose mu lukiiko lwa bannamawulire eggulo ku makya ku Ssemakookiro Plaza ne bategeeza nti, okusinziira ku mawulire ge bafuna, Kyagulanyi ne banne abalala bwe baakwatiddwa okuli n’ababaka ba palamenti Zaake Butebi, Paul Mwiru, Gerald Karuhanga n’abalala baatulugunyiziddwa ekisusse era baagala Gavumenti ebabawe babajjanjabe.

Olukuççaana luno lwabaddemu aba famire ya Kyagulanyi abaakulembeddwa baganda be, Fred Nyanzi, Eddie Yawe, Stephen Ssentamu ne mukyala we Barbie Itungo Kyagulanyi.

Lwabaddemu n’abeemikwano naddala abayimbi b’ekibiina kya Fire Base, bakyala baabwe ne bazadde ba Kyagulanyi okuva ku ludda lw’ebukojja ne munnamateeka we Andrew Karamagi.

Baawadde essaawa 48 zokka Gavumenti okuyimbula Kyagulanyi bwe kigaana, bagenda mu kkooti ebawalirize okumuta awatali kakwakkulizo konna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Laga 220x290

Aba NRM ababeera mu mawanga g'ebweru...

SSABAWANDIISI wa NRM Kasule Lumumba asabye Bannayuganda abali mu mawanga g’ebweru okukomya okusiiga ensi yabwe...

Pata 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

OMULAMUZI akulira kkooti ento e Masaka, Deogratious Ssejjemba yeesitudde n’agenda e Kasanje mu ggombolola y’e Kyesiiga...

Mate 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

POLIISI y’e Mpigi ngeri wamu n’abakulira ekitongole ky’eby’ebibira mu ggwanga ekya National Forest Authority (NFA)...

Gano 220x290

Omugagga asenze ebintu bya Klezia...

KLEZIA n’abatuuze abalina ebibanja ku kyalo Nkakwa mu ggombolola y’e Ssi - Bukunja mu disitulikiti y’e Buikwe,...

Wanga 220x290

Obwaddereeva buliko emyaka gy’otolina...

OLUVANNYUMA lw’Omulangira Phillip bba wa Kwiini wa Bungereza, Elizabeth okufuna akabenje ng’avuga mmotoka ku myaka...