TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Embeera Bobi Wine gy'alimu etabudde Barbie n'ayomba

Embeera Bobi Wine gy'alimu etabudde Barbie n'ayomba

By Musasi wa Bukedde

Added 17th August 2018

Bobi Wine bwe yabadde tannasimbibwa mu kkooti y’amagye eggulo, mukazi we yatabukidde e Gulu ng’abuuza we basibidde bba. Kyokka era oluvannyuma bba bwe yasimbiddwa mu kkooti, ye Barbie Itungo (mukyala we) teyakkiriziddwaayo.

Tabuka1 703x422

Barbie Itungo, mukyala wa Bobi Wine (ku kkono) ne balooya okuli Asuman Basalirwa (ku ddyo).

Barbie okutabuka yabadde ayagala kulaba mwami we kubanga yabadde amaze okulagibwa ebifaananyi ebiraga nti Bobi Wine yabadde akubiddwa nnyo.

EMBEERA YA BOBI WINE

Barbie yabadde akyayomba n’afuma amawulire nti bba bamutuusizza mu kkooti y’amagye mu nkambi e Gulu.

Yapapye mangu okugenda okumulaba kyokka era abajaasi tebaamuganyizza kuyingira.

Bakkirizza balooya ba Bobi Wine babiri bokka; Asuman Basalirwa ne Medard Lubega Seggona.

Baamuleese mu kkooti ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo nga bamukwatiridde okumuyingiza. Looya we Basasirwa yategeezezza Bukedde nti baamuleese bamukwatiridde nga tategeerekeka.

Amaaso gaabadde gazimbye, ng’omutwe guzimbye nnyo, tavaamu yadde ekigambo nga n’okutambula tasobola bawaniridde muwanirire.

Wano Basaalirwa ne Seggona baawakanyizza kkooti okusomera omuntu eyabadde mu mbeera bwetyo emisango nga bagamba nti tebiyamba kuba n’ebigenda mu maaso yabadde tabitegeera.

Kino ssentebe wa kkooti eno Lt. Gen. Andrew Gutti yakigaanyi era n’agenda mu maaso n’okumubuuza eby’okusangibwa n’emmundu.

Bobi Wine baakanze kumubuuza nga talina ky’avaamu nga bw’aba awalirizza by’ayogera tebikwatagana. Kkooti eyatuulidde ekiseera ekitono, yabaddemu abajaasi nga 50.

Ababaka abaasindikiddwa palamenti ne balooya abalala n’aba famire bonna tebakkiriziddwa kuyingira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ket1 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze butto wa ovakkeddo gy'ayinza okutasaamu asiriiza entamu ssaako okufuukuuka...

Gwa 220x290

Anoonya omuvubuka ali siriyaasi...

OMWAKA nga gutandika abaana abawala bangi basazeewo okukkakkana era bangi bayigga bavubuka batuufu. Ku bawala 10...

Noonya 220x290

Nnoonya omwami ananjagala n’omwana...

Njagala omwami alina empisa, eyazimba nga mwetegefu okunfunira omulimu n’okugenda ewaffe n’okunjagala n’omwana...

Teba 220x290

Esther weebale kumponya laavu y’abayaaye...

NZE Henry Ssekabo, 26 nkola gwa busuubuzi nga mbeera Kawempe mu muluka gwa Bwaise II, Tebuyoleka Zooni.

Spice 220x290

Maneja Roger ye yamponya okudda...

NG’EBULA ennaku mbale okutuuka ku konsati ya Spice Diana etuumiddwa ‘Spice Diana live concert’ egenda okubeera...